Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyettaka, amayumba wamu n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nabakooba, ayimirizza abantu okusengulwa ku ttaka ng’eggwanga likyali ku muggalo.
Ekiragiro kino Minisita Nabakooba yakiyisizza ggulo ku Ssande bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala.
“Tewali musenze ku ttaka alina kusengulwa ku kibanja kye oba ku ttaka mu kiseera kino eky’omuggalo. Singa omuntu agezaako okusengula ku mpaka kubira poliisi, RDC oba tegeeza kkooti basobole okuzuula obutuufu bw’olukusa n’ebiragiro by’alina okusengula abantu ku ttaka.” Minisita Nabakooba bwe yannyonnyodde.
Ebiragiro bino biddiridde ebikolwa by’okugobaganya abantu ku ttaka okweyongera mu; Mukono, Mpigi, Nakasongola, Mubende, Kassanda, Buikwe, Wakiso, Ssembabule, Kagadi, Nebbi, Dokolo, Sheema, Mbale n’ebirala.
Ono agamba nti mu mbeera nga nannyini ttaka asazeewo ettaka lye okuliguza omuntu omulala n’atawa basenze mukisa mu muggalo guno, eddembe n’obuyinza bw’abasenze tebujja kutaataaganyizibwa mu ngeri yonna.
“Landiroodi omukadde ajja kutwala obuvunaanyizibwa okwanjula abasenze eri Landiroodi omuggya, basobole okumusasula obusuulu ng’omuggalo gugguddwa.” Nabakooba bwe yannyonnyodde.
Minisita Nabakooba yasabye ababaka ba Pulezidenti n’abakulira eby’okwerinda ku disitulikiti, okuyambako okulaba ng’abantu tebasengulwa ku ttaka mu bukyamu mu kiseera kino eky’omuggalo.