Bya Betty Namawanda
Masaka Buddu
Abantu abaliko obulemu e Masaka balumirizza abamu ku bakulu mu kibuga kino okwekobaana ne banyaga ssente zaabwe eziva mu gavumenti ezimanyiddwa nga Special Fund zibayambe okwekulaakulanya.
Okusinziira ku kkansala w’abaliko obulemu omulonde mu kibuga Masaka, Vincent Ssentongo, agamba nti baalina okufuna obukadde butaano buli kibiina naye beewunyizza okulaba nga baaweereddwa wakati w’akakadde akamu n’ekitundu n’emitwalo 30.
Ssentongo yannyonnyodde nti ebitabo by’abakulu mu Masaka biraga ebibiina 13 bye byafunye ssente zino kyokka nga bo abakulembeze b’abantu bano bamanyi ebibiina 6 byokka nga bino ebirala byateereddwawo abakulu okusobola okubulankanya ssente zino.
“Tukooye okutuyita abateesobola ne mututwalako ebyaffe kyokka ng’abakulu abavunaanyizibwa ku nsonga zaffe ez’abaliko obulemu bennyini be bali mu kutunyaga nga kati twagala be kikwatako bakomyewo ensimbi zaffe.” Abantu bano abaliko obulemu bwe yagambye.
Omu ku bano Mukasa Muzungu yagambye nti baafunye obubaka okuva mu bbanka ng’ensimbi zaabwe bwe zaggyiddwayo kyokka nga naye alina okussaako omukono talina ky’amanyi.
Yagasseeko nti bwe baagenze mu bbanka okwebuuza ate babasenzezza luti ne babalagira okusooka okukkiriziganya n’abakulira ekibuga Masaka bwe baba baakufuna ssente zino.
Balumiriza nti bbanka yabasabye basooke babeeko ssente ze bagiwa okusobola okuziggyayo, ekintu ekimenya amateeka, era ne basaba akulira okulwanyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti, Col.Edith Nakalema, okuyingira mu nsonga zaabwe.
Ye omubaka wa Pulezidenti mu kibuga Masaka, Fred Bamwine, yategeezezza nti yamaze edda okufuna okwemulugunya kw’abaliko obulemu era n’alagira ekitongole kya polisi ekinoonyereza ku buzzi bw’ emisango okuyingira mu nsonga eno.