Bya Jesse Lwanga
Kira
Okulonda abakulembeze ba booda booda mu Bweyogerere Divizoni mu Munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso kuggweeredde mu bikonde awamu n’okusikang’ana ebitogi ng’entabwe evudde bukwakkulizo obwateereddwawo.
Okusinziira ku bamu ku beetabye mu kulonda kuno okuyindidde ku Tarzan Gardens e Bweyogerere, abalonzi ab’enjawulo baakedde okutuuka mu kifo kyonna kye baasanze nga kisibiddwa abategese okulonda kuno.
Bano balumiriza nti abalonzi bwe batandise okuyingira abasoose okuweebwa omukisa babadde tebamanyiddwa, lye balabye nga ekkobaane okubbiramu akalulu.
Batabuse era ne bawaliriza ababadde bakuliddemu okulondesa kuno okuggulawo Wankaaki w’ekifo omulondebwa ku kifuba ekivuddeko okulwana okubalukawo.
Atwala eby’okwerinda mu Bweyogerere, GISO Jimmy Kabugo awamu ne Registrar wa Kira, Mayambala Bashir, batuuse nebakkakkanya embeera, okulonda ne kugenda mu maaso.
Ebifo ebirondeddwa kuliko; Ssentebe, Omumyuka wa ssentebe, omuwandiisi, Omuwanika, n’oweebyokwerinda.
Ebbugumu eryamaanyi lisinze ku kifo kya ssentebe era abavuganyizza babadde basatu okuli; Badru Sinaani, Mafabi Sadic, ssaako ne Samuel Ssenyanja era nga gye biggweeredde nga Badru Sinaani awangudde n’obululu 102, n’addirirwa Samuel Ssennyanja n’obululu 93.
Ssentebe alondeddwa Badru Sinaani, asabye b’avuganyizza nabo okukolaganira wamu naye okutwala omulimu gwabwe mu maaso. Ono asabye gavumenti okubakwasizaako mu kwekulaakulanya ng’eyongera ensimbi mu Sacco yaabwe gye baatandikawo.
Ate Muhammad Wafeenya alondeddwa ku kifo ky’ebyokwerinda, asuubizza okugoba bakanyama mu mulimu guno kuba baguvumaganya.
Okulonda kuno kwe kukomekkerezza okulonda kwonna okw’obukulembeze bwa booda booda mu Kira Municipality ate nga kuyindidde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.