Bya Ssemakula John
Kampala
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party(DP), Nobert Mao, agamba atuukiridde akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine okulaba bwe basobola okuddamu okukolagana.
Mao yategeezezza nti basazeewo okuteeka obutakkaanya bwabwe wabbali beegatte basobole okutwala mu maaso olutalo lw’okununula eggwanga okuva mu mikono gya National Resistance Movement (NRM).
“Tugenda kusisinkana abakulira NUP nga DP okulaba bwe tusobola okuddamu okukolagana mu kiseera kino ng’akalulu kawedde.” Mao bw’agambye.
Bino Mao yabyogeredde mu nsisinkano n’abakungu b’ekibiina kya ‘Women’s Situation’ wano mu Kampala.
Mao y’omu ku baavuganya mu kalulu akawedde aka 2021, akaawangulwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Kinajjukirwa nti nga tusemberera akalulu abamu ku babaka abaali mu DP 21, baagiddukamu ne beegatta ku kibiina kya Bobi Wine ekya NUP era ku nsonga eno Mao yayogera biwanvu.
Ababaka bano Mao yabayita emmome ezaali zitwaliddwa omuyaga nga zaali zaakusigala ku lubalama oluvannyuma lw’omuyaga gwa ‘People Power okuyita.’
Guno si gwe mulundi ogwali gusoose Kyagulanyi obutakwatagana na Mao, bwe yali agenda okuvuganya ku bubaka bwa Kyaddondo East mu 2017, Kyagulanyi yagenda mu DP emuwe kkaadi wabula n’egaana.
Bwe twali tugenda mu kalulu ka 2021, Bobi Wine ne bannabyabufuzi abalala baali baagala omuntu omu y’abeera asimbibwawo ku bwapulezidenti era nga Gen. Mugisha Muntu ne Henry Tumukunde ekiteeso baakiwagira.
Wabula FDC ne DP baakigaana era tekyakola, kati tekimanyise oba Mao kyagezaako okuddamu okuzimba okukolera awamu kinaasobola okutuukirira.
Mao era agamba nti ekiseera kituuse akulira akakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu abeere wa ludda oluvuganya kuba eno y’engeri esobola okukuuma eddembe lya bannansi kuba gavumenti y’ensinga okulityoboola.