Bya Ssemakula John
Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asiimye n’abaako basajja be awamu n’abazaana bawadde ejjinja ery’omuwendo oluvannyuma lw’okwolesa obusukkulumu mu mirimu egy’enjawulo gye bakola wamu n’okuweereza Embuga.
Bano Beene abasiimidde ku mukolo gw’entikko y’ebijaguzo by’amazaalibwa ge ag’emyaka 66 agakuziddwa wansi w’omulamwa; “Abaami ffe basaale mukulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya,” oguyindidde mu Lubiri e Mmengo leero ku Lwokubiri.
Bw’abadde ayanjula abasiimiddwa, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti, “Kabaka bw’abeera ajaguza amazaalibwa, atera okusiima abantu ab’enjawulo abasukkulumye mu buweereza bwabwe mu bintu ebitali bimu era ne ku luno alina b’asiimye.” Katikkiro bw’alangiridde.
Kino ky’ekitiibwa ekyokubiri mu Bwakabaka bwa Buganda ng’ekisooka ky’ekitiibwa ky’Amafumu n’Engabo.
Bino bye bitonotono ebikwata ku basiimiddwa:
Owek.Tofiri Kivumbi Malookweza : Ono aweza emyaka 93 nga yazaalibwa Omwami Kizza Kivumbi n’Omukyala Zedda Namatovu e Ngonda mu Buddu. Yaliko omukiise mu lukiiko lwa Buganda Olukulu. Mu 1998, Beene yasiima n’amukwasa essaza lya kyaddondo alimulamulireko era mu biseera bye nga Kaggo yakola nnyo okunyweza obukulembeze bw’abaami b’amasaza ga Kabaka. Ono wadde yawummula yeebuuzibwako nnyo mu minisitule ya Kabaka eya gavumenti ez’ebitundu.
Katikkiro amwogeddeko ng’eky’okulabirako ekirungi. Musuubuzi mututumufu ate Omukatoliki kkungwa era nga musirikale wa Ppaapa mu Uganda. Yeddira Ng’onge.
Annet Nandujja: Muzzukulu wa Muyingo ono asinga kumanyibwa lwa mazina amaganda g’abiibwa ne Mukerere n’amwenya. Ono yazaalibwa nga 7 April 1959. Kitaawe ye Isaac Jjagwe ate Nnyina ye mukyala Joyce Nabatanzi. Muyimbi wa nnyimba ez’obuwangwa ate muzinyi mw’atendekedde abantu abangi era bye bimututumudde.
Azannya emizannyo gye yatandikira mu kibiina kya The Planet. Ono alafuubanidde nnyo olulimi Oluganda wamu n’ebyobuwangwa n’ennono. Mukuumaddamula amwogeddeko ng’omukyala aweesa ekitiibwa.
Hajji Dr. Bulayimu Muwanga Kibirige (BMK): Wadde nga Hajji asangiddwa ng’ali wabweru wa ggwanga gye yagenda okujjanjabibwa, ejjinja lye linoneddwa mukyala we, Hajati abangi gwe baakazaako erya Maama Musa.
Ono yaweebwa ekitiibwa ky’obwadokita mu bbizineesi si lwa bitabo bingi, wabula olw’obumanyirivu bw’alina. Ye nnanyini Hotel Africana ne bbizineesi endala nnyingi era ekisaawe kya bbizineesi akimazeemu emyaka egisoba mu 50.
Katikkiro ayogedde ku BMK ng’omuntu ayagaliza, akwata abalala ku mukono, ate omuyambi. Ono aweerera abaana bangi abatalina mwasirizi. Ayagala ate awagira nnyo Obwakabaka bwa Buganda. Hajji Bulayimu Kibirige yazaalibwa Omuzira Ngeye Kibirige n’Omukyala Mariam Nayiga.
Dr. Ken Chapman Kigozi: Ono nzaalwa ya Texas mu America era wa myaka 71 wabula amaze emyaka 40 mu Uganda ng’ajjanjaba amannyo mu ddwaliro e Mmengo era ayagala nnyo obuwangwa bw’Abaganda era y’ensonga lwaki yaweebwa ekika ky’Effumbe.
Ono yawerekeddwako mukyala we, Lyn Nampijja nga naye kyeruppe. Ono ayagala nnyo obuwangwa bwa Buganda ne Uganda era Oluganda alukuba budinda. Atemera mu gy’obukulu 71.
Joseph William Kiwanuka: Y’omu ku batandisi ba Statewide Insurance Company ( SWICO) n’Omugenzi Ssebaana Kizito. Katikkiro amwogeddeko ng’ekyokulabirako ekirungi. Akola ne St. John’s Ambulance wamu ne Lion’s Club. Atuula ku bukiiko obuddukanya ettendekero lya YMCA ne Ssettendekero wa Uganda Martyrs University.
Muweereza mu kibiina ky’olulimi Oluganda ate mu Ekeleziya Katolika Ppaapa yamuwa ekitiibwa ky’obusirikale. Owek. Mayiga era ategeezezza nti omusiime ono awagira nnyo emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda.
Wabaddewo n’okutongoza ekitabo “Mutebi II Kabaka omulwanirizi w’Ebyaffe,” ekyawandiikibwa Munnamawurire omukukuutivu Timothy Ntanda Lukabi Mugerwa. Kino kikwata ku bulamu bwa Kabaka Mutebi era ng’omuwandiisi alina ky’atoneddeko Kabaka ng’Amakula.