Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi akungubagidde musajja we abadde Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, aziikiddwa mu Lutikko e Lubaga oluvannyuma lw’okufa ekirwadde ky’omutima.
Mu bubaka bwe obusomeddwa Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, Kabaka asaasidde Omutaka Gabunga, abooluganda lw’omugenzi wamu n’abatuuze b’e Kyabakadde n’Eklezia mu ggwanga.

Omutanda asiimye omugenzi olw’okutandikawo ekkaddiyizo eryabbulwamu Ssekabaka Muteesa 1 era n’asuubiza okusiima okuliggulawo mu bbanga eritali lyawala.
Ku lulwe Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yeebazizza omugenzi olwokumusembeza ne bakola bombi era n’amwebaza olw’okwolesa obumalirivu n’ayimirirawo ku nsonga za Buganda Ssemasonga ettaano.
“Okubeera omukulu w’eddiini tekyalobera Ssaabasumba Lwanga kutegeera buwangwa bwe na nnono.” Owek. Charles Peter Mayiga bwe yagambye.
Ssaabasumba Lwanga aziikiddwa munda mu Eklezia enkulu ey’e Lubaga ku lunaku lwennyini lwe yaweebwa obusasolodooti emyaka 43 egiyise.
Ssentebe w’olukiiko lw’Abepisikoopi, Rev. Fr. Joseph Anthony Zziwa era abadde omutambizi omukulu mu kusiibula Dr. Cyprian Kizito Lwanga, agambye nti omugenzi alwaniridde ennyo emirembe era buli lw’abadde ayogera ng’enjiri ye agyesigamya ku byawandiikibwa.
Asabye abakristu okunywera, baleme kutya ate bongere okukola Katonda by’ayagala nga Yezu bwe yabuulira abo abaaliwo ng’azuukidde. Obubaka obuvudde ew’Omutukuvu Ppaapa Francis busaasidde abakristu mu Uganda wamu n’ensi yonna olw’eddibu erizze mu Eklezia.
Ab’enju y’omugenzi beebazizza Eklezia olw’okwagala muganda waabwe n’okumuwa omukisa okuweereza Omukama nga bw’abadde ayagala ate ne beebaza gavumenti okumuziika mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu.
Ate ye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu bubaka bwe bw’atisse omumyuka we, Edward Kiwanuka, yeebazizza Dr. Lwanga olw’okufaayo okukulaakulanya abantu wonna w’abadde alaga.
Omukolo gw’okuziika Ssaabasumba Lwanga gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka omubadde; Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira David Kintu Wassajja n’Omuzaana Nankya n’abalala bangi okuli bannaddiini ne bannabyabufuzi.









