Bya Noah Kintu
Ssembabule
Ensonga z’ettaka lya Kabaka ery’e Mijwala mu Mawogola zirinnye enkandaggo, oluvannyuma lw’omu ku bakaayanira ettaka lino okutwala Muteesa mu kkooti ng’ayagala kkooti erimuddize. Bulola Benon ye yatutte Muteesa Sserwadda Muhammad mu kkooti ng’amuvunaana okusalimbira ku ttaka lye wadde nga Muteesa alumiriza nti ono ettaka ayagala kulibba ku Bwakabaka.
Eggulo Muteesa yasimbiddwa mu kkooti esookerwako e Ssembabule mu maaso g’Omulamuzi Oduru Morris Ezera n’abalala bataano okuli; Miiro Erias, Kaweesi Charles, Kamuntu Bosco, Mulabyangoma Gordon ne Zikusooka.
Muteesa ne banne bagguddwako emisango esatu okuli; Okwonoona ebintu, okusalimbira ku ttaka wamu n’okubba ebintu ebyali ku ttaka lino.
Oluvannyuma lw’okusomerwa emisango munnamateeka wa Muteesa yasabye okweyimirirwa era Omulamuzi Oduru n’amukkiriza ku kakalu ka kkooti kakadde ka ssente ezitali za buliwo.
Ate ye eyamweyimiridde Namugula Fatuma n’asabibwa emitwalo 50 egitali gya buliwo ate abalala ne basindikibwa ku alimanda mu kkomera e Ssembabule olw’okulwawo okweyanjula mu kkooti.
Ettaka lino liwerako yiika 49 era nga lisangibwa mu ggombolola y’e Mijwala era bano Bulola ayagala kkooti emuyambe bakomye okulisalimbirako.
Kino kiddiridde Muteesa okuyitibwa ku poliisi n’akola sitetimenti ku misango Bulola gye yamuwaabidde era enkeera n’asimbibwa mu kkooti n’avunaanibwa.
“Banvunaanye n’abantu 5 era bannakigwanyizi baagala kubba ettaka lya Kabaka naye kyembakakasa ettaka lino terigenda kusalimbirwako buli omu nga bwe basuubira era lijja kuddira Obwakabaka era buyungudde bannamateeka okuyamba ababadde batulugunyizibwa.” Muteesa Sserwadda bwe yannyonnyodde.
Ssaabawaali Mijwala Saabwe Ssempala John yasiimye Obwakabaka okuvaayo ne bubayambako ku nsonga eno nga busindika bannamateeka okubayambako ku nsonga eno.
Ate ye Bulola Benon agambibwa okwesenza ku ttaka lino yagambye nti abagugoba ku ttaka lino bweba baagala okulitwala bayite mu mateeka naye tajja kukkiriza kulimuwambako.
Munnamateeka okuva mu Bwakabaka, Waduuka Maluufu, yaggumiza abatuuze okubeera abagumu kuba tewali muntu ajja kuyita mu lukujjukujju kutwala ttaka lino kuba amateeka gagenda kulamula ekituufu.
Omutongole wa Kabaka e Mijwala, Namaganda Jane agamba yeewuunya Bulola okwesiba ku ttaka lino n’atandika n’okutulugunya abantu ku ttaka ly’amanyi nti si lirye.