Bya Musasi Waffe
Kampala
Bbaasi ya Palamenti ebadde esaabaza abalwadde ba ssennyiga Corona ekutte omuliro mu bitundu bye Gulu.
Emmotoka eno nnamba UG 0391H ebadde egenda mu disitulikiti ye Kitgum nga etisse abalwadde ba COVID-19 abawera 25 omuliro gugikwatiddwa ku kyalo Koro ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kampala.
Omukutu guno ogwa Gambuuze tegunakakasa balwadde bameka abafunye ebisago mu kabenje kano wabula kikakasiddwa nti, tewali afudde.
Poliisi ya Bazinyamooto yamaze dda okutuuka mukifo kino era nga yatandise dda okulwana okuguziyiza wabula nga ekivuddeko omuliro guno tekinategeerekeka.
Ebisingawo ku ggulire lino tubireeta.