Kalisizo
Abantu 36 be basindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’essaza mu disitulikiti y’e Masaka olw’okwenyigira mu kwekalakaasa okwali mu kitundu kya Kyotera Ttawuni kkanso Ssabbiiti ewedde.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/AXX-Copy-1.png)
Omugatte gw’abantu 60 be baakwatibwa ku Lwokuna n’Olwokusatu okuva mu bitundu by’e Kyotera eby’enjawulo.
Bano baakwatibwa poliisi, amagye n’aba LDU oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) e Luuka bwe yali anoonya akalulu akanaamutuusa ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna aka 2021.
Abakwatte ng’okusinga bavubuka abali wansi w’emyaka 25, baasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Kalisizo, Joy Namboozo n’abasindika ku alimanda.
Bano emisango bagyegaanye era n’okusaba kwabwe okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti, nakwo omulamuzi n’akugaana olw’abajulizi abaaleeteddwa obutaba na bisaanyizo.
Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka, Muhammad Nsubuga, yagambye nti bakyaliko abantu abalala abeetaba mu kwekalakaasa kuno be banoonya.
Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino, David Matovu, yannyonnyodde nti bo ng’abakulira eby’okwerinda mu disitulikiti ezikola ekitundu kya Masaka, bali bulindaala okwambalagana n’omuntu yenna ayagala okutabangula emirembe gya bannamasaka.
Matovu yagasseeko nti baliko abantu be banoonya nga be bagambibwa okukulemberamu okwekalakaasa kuno n’ategeeza nti wadde embeera yazze mu nteeko, baakukozesa abakessi baabwe okulaba ng’abaakuliddemu obwegugungo buno bavunaanibwa.
Bya URN