Bya Musasi Waffe
Kabale
Abantu 3 bafiridde ku nnyanja Bunyonyi mu gombolola ye Butanda mu disitulikiti ye Kabale oluvanyuma lw’eryato kwebabadde batambulira okubbira.
Abagenzi ye; Johnbosco Tumuheki, Felix Arineitwe ne Firicano Turyahikayo, nga bonna batuuze be Katetenkora e Nyamiryango e Kabale.
Okusinziira ku yabaddewo nga akabenje kano kaggwawo, Tarasisio Barinde, akabenje kano kavudde ku muyaga ogw’amaanyi era nga kaguddewo ku ssaawa nga 12 n’ekitundu era nga eryato lino lyabaddeko abantu 6.
Barinde yateegezezza nti abagenzi n’abawonyewo babadde badda waka nga bava mu lukungaana lw;abavubuka olwabadde e Nyamiryango.
Abawonyewo baddusiddwa muddwaliro lya Nyamiryango Health centre II okufuna obujjanjabi obusookerwako era nga bano kuliko; Agnes Kabuzi, Suzan Tayewa ne Tito Kanyonyozi, nga bonna batuuze be Katetenkora.
Emirambo gy’abagenzi gikyalemedde mu nnyanja.
Gyebuvuddeko, abantu babiri okuva mu gombolola ye Muko mu disitulikiti ye Rubanda nga nabo bafiira ku nnyanja yeemu era nga okusinziira ku batuuze obubenje buno buzze bubeerawo ku nnyanja eno.
Kinajjukirwa nti mu 2015, pulezidenti Yoweri Museveni yasuubizza okuwa abantu b’e Rubanda ne Kabaale ekidyeeri wadde nga ekisuubizo kino tekinatuukirizibwa.