Bya Musasi Waffe
Minisita w’abavubuka emizannyo n’ebitone mu Bwakabaka Owek. Robert Serwanga Ssaalongo alambudde omukadde Gertrude Nakabazzi Kalaala nga ono yalwala ekirwadde eky’okusanyalala.

Minisita ono amukyalidde mu maka ge e Nabweru ekisangibwa mu Kyandondo.Minisita agamba nti omukadde ono amanyikiddwa nnyo mu Bwakabaka kubanga nga oggyeko ekyokubeera mulerwa ate era ayagala nnyo Kabaka we n’eggwanga lye Buganda.
Nga olumbe terunnamugwira Nakabazzi ono abadde ajjumbira nnyo enteekateeka y’emisinde gy’amazaliibwa ga Kabaka egitegekebwa buli mwaka.
“Jjajja ono ayagadde nnyo Kabaka we kubanga takoma ku mwagalira mu bigambo wabula ne mu bikolwa era tubadde tumulaba nga avaayo ne yetaba naffe mu nteekateeka y’emisinde gya Kabaka nolwekyo tusazeewo okwesitula tujje tumulabeko tumusaasire obulwadde wamu nokumuzzaamu essuubi era twongera okumusabira Katonda amusuuse” Minisita Serwanga.
Minisita yebazizza abantu abamubeereddewo naddala aba family ye abenganda wamu n’abemikwano olwomukwano gwe bamulaze era n’abasaba obutakoowa kumubudaabuda.
“Twebaza nnyo bannafe abamuyambye mu kaseera akazibu kano aba family abemikwano wamu n’abasawo abafubye ennyo okulaba nga bakuuma obulamu bwe era nsaba twongere okumusabira kubanga nga Obwakabaka tufuba nnyo okulaba nga tuba ne bannaffe mu mbeera yonna era eyo ensonga lwaki twesitudde tusobole okutuukiriza akabonero ako ak’obumu” Minisita Serwanga.

Ensisinkano eno era yetabiddwako abantu bangi okuli abooluganda lw’omulwadde Nakabazzi wamu n’abemikwano bangi nabo babaddewo.









