Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali omubalirizi omukulu ow’ebitabo mu woofiisi ya Ssaabaminisita, Geoffrey Kazinda asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 40 oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango egy’enjawulo omuli; okujingirira ebiwandiiko, okufiiriza gavumenti, okugezaako okwegaggawaza n’okukolagana n’abalala ne babba ssente z’omuwi w’omusolo.
Omulamuzi Margaret Tubalya abadde mu mitambo gy’omusango guno alagidde Kazinda okuliyirira gavumenti obuwumbi 19.
Omulamuzi ategeezezza nti Kazinda takkirizibwa kuddamu kutuula mu gavumenti okumala emyaka 10 okuva olwaleero ng’etteeka erirwanyisa obukenuzi erya ‘Anti-Corruption Act 2009’ bwe ligamba.
Kkooti etegeezezza nti ensala y’omusango guno enzijuvu egenda kuweebwa abantu kuba Kazinda n’abantu b’avunaanibwa nabo tebabadde mu kkooti omulamuzi w’aweeredde ensala.