Musasi waffe
Abawala bangi ensangi zino bakola ebitajja nsa ng’okwetunda, okucanganya abasajja wamu n’emize emirala mingi nga beekwasa obwavu. Naye kino sibwekyali ku muwala Sharon Mbabazi muwala w’omwami Steven Ssemasaka abatuuze b’e Masoli mu ggombolola y’e Kasangati mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaddondo. Mbabazi babazaala abaana bataano nga ye wakusatu. Nnyabwe yafa mu 2004, n’abalekera kitaabwe akoze kyonna ekisoboka okulaba nga abayimirizaayo. Wabula olw’okuba tayalina mulimu gwenkalakalira gwakola, kyafuuka kizibu nnyo okusobola okubaweerera bonna kyokka nga bbo baagala okusoma. Okusobola okusigala mussomero, kyali kyetaagisa nabwo okwenyigiramu mu kunonya ebisale. “Twasekererwanga nnyo ku kyalo ne kussomero, nga batuyita abaavu. Oli nebweyabulwanga ssapatu oba emmere aggya kuginonyeza waffe nga alowooza olw’okuba tuli baavu ffe tuba tugitutte. Nafuna ekirowoozo nti omuntu okukuwa ekitiibwa olina kukola nnyo. Nali simanyi kirala kyonna kyakukola okujjako okukuba bbulooka nsobole okufuna sente ezisoma. Mu maaso nga nsuubira okubeera obulungi nzigyeyo amaka gaffe,” Mbabazi, aga ono yasomera Wampeewo Primary School, St Francis Secondary School Wampeewo gyeyatuulira siniya ey’okuna wamu ne Comprehensive College Kiteetikka, gyeyamalira siniya ey’omukaaga bwagamba. Mbabazi agattakao nti bwayatandika okukuba bbulooka buli ayamuyitangako nga amusekerera, abamu nga bamukuba n’ebifananyi nga beewunya omuwala okukuba bbulooka.“Naye nze tekyannumanga kubanga nakoleranga mu basajja mu birombe. Tebalina kyebatanjeregangako. Omuntu bwayitawo n’antunuulira mpulira bulungi.” Wabula newankubadde yali asobodde okusoma mu bibiina ebyawansi nga ssente azijja mu bbulooka, kyali kizibu nnyo okufuna ssente ezimala okusobola okugenda mu ssetendekero. N’abwekityo, newankubadde yatuula ebibuuzo bye ebya siniya eyomukaaga mu 2014, teyasobola kugenda mu ssetendekero omwaka 2015. Nga Katonda bwakola ebintu bye, waliwo omukyala gwamanyiiko erya Esther lyokka, eyamuzigirira nti mu Ssetendekero wa Kabaka owa Muteesa I Royal University baali bayambako abaana abatalina busobozi okusoma nga bayitira mu Nsawo ya Kabaka Education Fund.
Yaweebwa basala ey’ekitundu nga naye alina okunonya ekitundu ekirala era bwatyo yeyongera okukuba amataffaali okusobola okufuna essente. “Bbulooka nzikubye lino lyonna ebbanga ppaka wemaze okusoma. Nzifunyeemu ebirungi bingi naye n’ebisoomooza bingi ng’okulumya ekifuba, n’omugongo,” Mbabazi bweyategeezezza. Wiiki ewedde, Mbabazi yabadde omu ku bayizi 915 ebaatikiddwa ddiguli ku Ssetendekero wa Muteesa I Royal University, e Kirumba Masaka, mu ssaza ly’e Buddu. Eyiye yabadde mumawulire. Mbabazi agamba kati nga bwamaze okusoma yandyagadde okufunayo omulimu omulala mwajja essente z’okuteeka mu kukuba bbulooka kubanga ezenyumirizaamu nnyo. “Bbulooka gwemulimu gwokka gwemmanyi era ky’ekyobusuubuzi kyewaffe. Nnandyagadde okugutwala mumaaso,” Mbabazi bwagamba.
Oli kyakulabirako kirungi Eggulo, Mbabazi yakyaddeko ku Bulange n’asisinkanamu Minisita avunanyizibwa ku bye’njigiriza Owek. Prosperous Nankindu Kavuma. Ono yamutendereza olw’obuvumu n’okumalirira kwalina. “Abaana abawala beyononye; tulina bangi ab’etunda nga bali matendekero olw’obwavu naye ggwe twagala okukwebaza olw’okuweesa Kabaka ekitiibwa. Twagala okukusibirira entanda nti obulamu bugenda kukyuka. Kubanga bwomala okusoma obulamu tebusobola kusigala kyekimu, mu mwoyo ne mumubiri,” Nankindu bweyagambye Mbabazi. Yamusabye okukkiriza bamweyambise ng’ekyokulabirako eri abana abawala, kumulamwa Beene gweyabatuma ogw’okukuumira abaana abawala mu masomero. “Bw’onayogera bangi baggya kuwulira nti kisoboka okuba n’okusomoozebwa okwenjawulo naye n’osigala mu ssomero,” Nankindu bweyagambye.