
Bya Ssemakula John
Kampala
Omu ku bannamateeka ab’erinnya mu Kampala, Kiryowa Kiwanuka alondeddwa okubeera Ssaabawolereza wa gavumenti ya Uganda okudda mu bigere bya William Byaruhanga.
Byaruhanga aweerezza okuva mu June wa 2016 oluvannyuma lw’okusikira Fred Ruhindi. Kiwanuka y’omu ku bafulumidde ku lukalala lwa baminisita olwafulumiziddwa eggulo akawungeezi.
Kiryowa abadde munnamateeka wa Museveni okumala emyaka egiwerako era w’ajjidde nga gavumenti erina okusoomoozebwa mu by’amateeka olw’emisango n’endagaano ezimu ezaakolebwa ne kkampuni naye ng’eggwanga terizifunamu. Egimu ku misango mwe muli ogw’eggwanga lya DRC Congo eribanja Uganda obuwumbi bwa ddoola 4 olw’okunya ebyobugagga byalyo wakati w’okulwanagana kwa 1998 – 2003.
Pulezidenti Museveni azze yeemulugunya ku bbeeyi y’amasannyalaze eri waggulu, ekintu ky’agamba nti kyakolebwa abamu ku banene mu gavumenti abaamuyita emabega ne bakola endagaano okuzimba ebbibiro lya bujagaali ku buwanana bwa ssente, awamu n’ekyaliwo mu 2005 obuvunaanyizibwa bw’okubunyisa amasannyalaze bwe bwakwasibwa kkampuni ya UMEME okuva ku Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL).
Kiryowa mukugu era ng’aliko abantu abawerako mu ggwanga b’asobodde okuyambako okuwolereza mu kkooti ng’akozesa kkampuni ya K & K asuubirwa okumulungula akattu akali mu nsonga za UMEME, Standard Guage Railway wamu n’amafuta ng’endagaano zino zonna ziriko ebibuuzo.
Ono olw’obumanyi bw’alina mu mateeka agakwata ku byamasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka, yalondebwa okutuula ku bboodi y’ekitongole ky’amafuta ekya Petroleum Authority.
Kiryowa bw’aba tali mu kkooti abeera azannya goofu akazannyo akettanirwa abagagga era yaliko ne Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo guno.
Ono era annyumirwa omuzannyo gw’omupiira era akulembeddeko ne kkiraabu ezimu mu ggwanga.
Mu buyigirize ono azitowa, alina ddiguli mu by’amateeka okuva ku Makerere University, ddiguli eyookubiri mu by’amateeka mu mafuta okuva ku University of Dundee e Scotland.









