Bya Ssemakula John
Ssingo
Embeera y’abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu masaza ag’enjawulo etandise okuwa essuubi naddala mu busobozi bw’okufuna amazzi amayonjo. Bino bye bimu ku bibala by’omukago Obwakabaka bwa Buganda bwe gwatta n’aba Wells of Life.

Ku Lwokutaano Minisita wa Buganda ow’ebyobulimu n’obutonde bwensi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo yasiibye atongoza amazzi agayonjo aga Nayikondo mu Masaza okuli Busujju ne Ssingo era nga gano gawereddwayo bannamukago bano.
Bwe yabadde atongozza amazzi gano, Owek. Mayanja, yasabye abatuuze okukuuma Nayikondo eno eyabaweereddwa nga nnungi baleme kugikutula era bafeeyo neku mazzi agakulukuta nga bagatemera emifulejje mwe gasobola okutambulira kiyambe pulojekiti eno obutayonooneka.
Minisita Nkalubo yasiimye ekitongole kya Wells of Life olw’okufaayo okutuusa ku bantu ba Buganda amazzi amayonjo ekigenda okutumbula eby’obulamu mu kitundu kyabwe.
Abamu ku batuuze baategeezezza nti babadde batawanyizibwa nnyo endwadde eziva ku mazzi amayonjo nebeeyama okukuuma ebintu bino ebibaweereddwa.
Akulira Wells of Life mu Uganda, Adrian yategeezezza nti ekiruubirira kyabatandisi b’ekibiina kino, kwe kulaba ng’abantu babeera bayonjo era nga tebakoma ku kyakusima Nayikondo zokka, wabula batumbula n’ebyobuyonjo okusobozesa abantu okubeera abalamu.
Okusinziira ku mukugu wa Wells of Life, Nakyanzi Brenda, yagambye nti bakasima Nayikondo bitaano mu Uganda yonna naye mu Mityana disitulikiti baakasimayo Nayikondo 90 era nga baddaabirizza Nayikondo 70.
Ono yategeezezza nti bataddewo obukiiko obulina okusigala nga bulabirira Nayikondo zino.