Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya New England mu Boston, Massachusetts, Owek. Henry Ndawula adinzidde ku mukolo gwa “Buganda Day” 2024 ogwakuziddwa ku American Legion e Newton mu Massachusetts, n’akubirizza abantu ba Beene okwongera okujjumbira emirimu gya Buganda egikolebwa mu kitundu kino.
Yeebazizza nnyo abo abjjumbira enteekateeka za Buganda zonna era n’abasaba okukubiriza bannaabwe abakyagayadde nabo benyigiramu ng’akikaatiriza nti buvunaanyizibwa bwa buli Muganda okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka buli mwaka naddala okuyita mu nteekateeka ya ‘Luwalo Lwaffe’
Yasabye abantu ba Kabaka okwongera okuwagira emirimu gya Kabaka Foundation, naddala ensonga y’okusima enzizi, n’ensonga ya Buganda Bumu North American Convention, 2025 wano mu Boston wamu n’enteekateeka endala eza buli mwaka eziri mu Ssaza.
Owek. Ndawula yebazizza nnyo Omuky. Rhona Nakalyowa, Omumyuka wa Nnantebe wa Ggwangamujje, Boston , Olw’okubeera omusaale bulijjo mu kuteekateeka abaana n’ebyo bye boolesa ku lunaku luno bulijjo, ono agamba nti bino bye bakola biyamba abaana okwagala eggwanga lyabwe n’okwongera okulitegeera nga bayita mu bintu bino.
Olunaku luno lukuzibwa buli mwaka, era ku mulundi guno Omulamwa gwabadde gwa kujaguza olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka, kyokka era wabaddewo n’okutikkira Nnalulungi wa Buganda eyo.
Omukolo gwetabiddwako Omubaka eyawummula, Owek. Kato Kajubi n’omukyala, Omuk. Fiona Nattabi Kafeero n’Omwami, Nnantebe wa Ggwanga Mujje, Omuky. Rebbeca Nansasi n’Olukiiko lwa Ggwangamujja, Ssentebe wa Kabaka Foundation, Omulangira Kayondo n”Omuzaana, Rev. Fr. Vincent Kafuuma, Rev. Kasirye n’abantu ba Kabaka abalala bangi.