Bya Shafic Miiro
Luzira – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule amwogeddeko ng’omuntu omukakkamu era omwerufu, amwebaziza olw’obuweereza obulungi mu bifo by’azze aweererezaamu era agamba nti bamulinamu essuubi ddene, nti n’Obuvunanyizibwa obuggya ajja kubituukiriza bulungi.
Bishop Moses Banja, Omulabirizi w’e Namirembe ayozaayozeza Ven. Kakooza ng’ono yamudidde mu bigere, era amusabye okwongera ku nkulaakulana y’ekifo ate n’okulaba ng’ayongera okulungamya abantu ba Katonda.
Rev. Canon George William Kityo akulembeddemu okubuulira mu kusaba kuno ategeezeza Ssaabadinkoni Kakooza nti Katonda agabirira abo baawadde obukulembeze kyava agamba nti “Si mwe mwanonda Nze, naye nze nnalonda mmwe ne mbateekawo mugende mubale ebibala. Kyokka asabye abagoberezi b’Ekkanisa okubeera abawulize okwewala enjogera za ‘byoleese tebikola wano’ wabula bakwatagane ne Ssaabadinkoni waabwe omuggya ku lw’enkulaakulana y’Ekkanisa.
Ssaabadinkoni omuggya Ven. Wilson Kakooza yeebazizza nnyo Katonda olw’omukisa guno nate okuweereza abantu b’e Luzira, era asuubiza okutambuza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa obulungi ne yeeyama okukolagana Bannaluzira okutuukiriza ebyo Bishop Banja byeyaleka atandiseeko ate n’okulaba nga buli kitongole kya Kkanisa kikulaakulana.
Bino byonna bibadde mu kkanisa ya St. Stephen’s Church e Luzira ebadde ekubyeko obugule, era oluvannyuma lw’okusaba Abagenyi basembezeddwa ku ky’Emisana ku mukolo ogutegekeddwa mu luggya lw’Ekkanisa. Enteekateeka y’okutuuza Ven. Kakooza yeetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyafuzi ne bannaddiini n’abantu abalala bangi