Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), kyegaanye ebiyiting’ana nti baagobye omu ku bakozi baabwe eyakkiriza emmotoka ya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuyingira mu ggwanga.
Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole kino, Ian Rumanyika, tewali muntu yaagobeddwa mu kitongole naye ng’ensonga y’emmotoka ekitongole kigimanyi.
“Ensonga eno tugimanyi era tuginoonyerezaako nga tugoberera emitendera n’amateeka agatufuga. Okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde, tewali kirala kye tugenda kwogera ku nsonga eno.” Rumanyika bw’ategeezezza. Kino kiddiridde ebyafulumidde ku mikutu egy’enjawulo nga birumiriza abakulu mu kitongole kya URA okugoba Jane Akello olw’okukkiriza emmotoka ya Kyagulanyi okuyingira nga tasoose kutegeeza ku bakama be.
Egimu ku mikutu gy’amawulire gyalaze ng’abakulu mu URA bwe batandise okunoonyereza ku mmotoka ya Kyagulanyi ku bigambibwa nti aliko emisolo gye yeebalamye. Era waliwo n’ebigambibwa nti abakulu bonna abakola ku kuyingiza emmotoka okubaako siteetimenti ze bakola ku nsonga y’emmotoka eno.
Rumanyika agamba nti tebalinaayo Kamisona gwe bayita Akello oba omuntu yenna gwe bayita Namuli mu kitongole kino.