Bya Ssemakula John
Kampala
Aba Uganda National Examination Board (UNEB) bategeezezza ku Lwokuna nga bwebaliko ebigezo bya bayizi abatuula Siniya Ey’okuna abawera 1,035, byebasigazza olw’okwenyigira mu mize gy’okukopa n’okubba ebigezo.
Bino byogeddwa Ssenkulu wa UNEB, Dan N. Odongo bw’abadde afulumya ebibuuzo ku Lwokuna e Nakasero mu Kampala.
Ssenkulu Odongo agamba nti kino bakikoledde mu tteeka lya UNEB erya 2021, akawaayiro nnamba 5 (2) (b) wabula neyeebaza olw’omuze guno okujja nga gukendeera.
Ono ategeezezza nti ebifo bino ebyatuuliramu abayizi bano bagenda kubitegeeza mu butongole n’obukakafu obulaga nti tebaali beerufu.
“ Amagezi getwasala gayambye okukendeeza ku kubba ebigezo. Okusinga ebibuuzo ebibbibwa kuliko Physics, Chemistry, n’okubala nga abakopa bafuna okuyambibwa okuva mu bantu abatali bayizi, abayizi beekobaana ate waliwo nabapangisa ababakolera ebibuuzo awamu n’okuwaanyisa empapula,” Odongo bw’annyonnyodde.
Odongo annyonnyodde nti abayizi abatuula ebigezo bino beeyongedde n’ebitundu 4.8 ku buli 100 nebava ku 333,396 mu 2020 nebadda ku 349,459, mu bigezo bya 2022.
Ku bano 114,181 (32.7%) basomera mu Bonnabasome owa Sekendule so nga abayizi abalenzi abeewandiisa baali 175,768 (50.3%) ate abawala 173,691 (49.7%).