Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kitegeezezza nti abayizi abalenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala mu bigezo bya Siniya ey’okuna (S.4) eby’omwaka 2022.
Bw’abadde awaayo ebibuuzo bino mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero ku Lwokuna, Senkulu wa UNEB, Daniel Odongo ategeezezza nti ku bayizi 345,695 abatuula, 173,761 basajja ate 171,934 bawala.
Okusinziira ku bifulumiziddwa, ebitundu 15.5 ku buli 100 ebya balenzi bebayitidde mu ddaala erisooka (First Grade) so nga abalala babadde 11.5 ku buli 100, ebitundu 23.3 ku buli 100 bayitidde mu lyakubiri (Second Grade) ate nga abawala babadde ebitundu 21.0 ku buli 100.
Ebibalo bya UNEB, ebitundu 25.5 eby’ abalenzi bayitidde mu ddaala lyakusatu (Third Grade) ate abalala babadde ebitundu 25.8 ku buli 100. Era abayizi abalenzi abayitidde mu ddaala ery’okuna bakola ebitundu 31.4 ku buli 100 bwogeraageranya n’abawala abali ebitundu 37 ku buli 100.
Abalenzi abagudde n’enkoona nenywa bali ebitundu 4.3 ku buli 100 so nga abawala bali ebitundu 4.7 ku buli 100.
Odongo agamba nti abayizi abawala bakoze bulungi olungereza ate nga abalenzi babasinze mu ssomo lya Chemistry.
Ono annyonnyodde nti okutwaliza awamu abalenzi bakoze bulungi wadde nga bangi ku bawala nabo basobodde okuyita amasomo abiri ekiraga nti bangi ku bbo basobola okweyongerayo ku mutendera okuddako.