Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ensonga z’omunda erangiridde nti mu May egenda kuteekawo ekifo webagabira Paasipooti e Beijing mu China okuyamba bannayuganda okufuna n’okuzza obuggya Paasipooti zaabwe.
Kino kibikuddwa omwogezi wa Minisitule eno, Simon Mundeyi nakakasa nti ekifo kino kyakutandika okukola nga May, 2.
“Ekifo kino kigenda kugasa bannayuganda abali e Beijing awamu n’ebifo ebirala mu China awamu naabo abawangaalira e HongKong,” Mundeyi bw’ategeezezza.
Mundeyi agamba nti olw’enkolagana ennungi wakati wa Kampala ne Beijing bannayuganda bangi ababeera e China nga abamu bakolerayo ate abalala bagenda ku misomo.
Ekifo kino kigenda kuweza omuwendo gwa musanvu nga waliwo ebirala ebyaggulibwawo e Washington, London, Pretoria, Abu Dhabi, Ottawa ne Copenhagen.
Bino webijjidde ng’ekitebe kino kitudde ne Paasipooti eziwera emitwalo 3 e Kyambogo mu Kampala nga bannyinzo balemererwa okuziddukira mu bbanga lya myaka ebiri egiyise naye nga tebamanyi lwaki.
Mundeyi asabye abantu okuziddukira kuba zino zibaleetera okukola akasoobo so nga neweziterekebwa nawo wafunda.
Kinajjukirwa nti Minisitule eno efulumya Paasipooti eziwera 3000 buli lunaku okuyamba bannayuganda abaagala okufuluma eggwanga.