
Bya BBC
Kampala
Minisita w’ebyamawulire Chris Baryomunsi ategeezezza nti gavumenti etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti omuwandiisi w’obutabo Kakwenza Rukirabashaija yatulugunyizibwa bya nsusso mu kiseera ky’omwezi omulamba kye yamala ng’akwatiddwa ab’ebyokwerinda.
“Omuntu eyabadde emabega w’ekikolwa kino alina okubonerezebwa,” Baryomunsi bwe yategeezeza omukutu gwa BBC.
“Naye si kituufu nga bw’agamba nti ebikolwa by’okutulugunya abantu bibunye eggwanga lyonna, ekyo si kituufu, ffe nga gavumenti enkola yaffe si kutulugunya bantu naye mu nsi yonna abantu abasukka ne bakola ebikolwa nga bino tebabulayo.” Baryomunsi bwe yagasseeko.
Kinajjukirwa nti Kakwenza eyagula engule y’okuwandiika obutabo, yakwatibwa mu mwezi gwa Desemba olw’okuvvoola Pulezidenti Museveni ne mutabani we Muhoozi Kainerugaba ng’ayitira ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Ono yayimbuddwa wiiki eziyise naye kyategeerekese nti yafulumye eggwanga ku bigambibwa nti yagenze kufuna bujjanjabi olw’ebisago ebyamaanyi bye yafuna ng’atulugunyizibwa ab’ebyokwerinda.
Minisita Baryomunsi era yawakanyizza ebigambibwa nti bannansi baggyiddwako eddembe lyabwe ery’okweyogerera mu ggwanga nga bannamawulire n’abantu abakolokota gavumenti bonna obulamu bwabwe buli mu matigga, ky’agamba nti si kituufu.
“ Bakolokota gavumenti , ne badda mu maka gaabwe awatali kwekengera kwonna nti oba waliwo abagoberera. Si kituufu okugamba nti abantu bawangaalira mu kutya mu Uganda,” Baryomunsi bwe yagambye.
Ku bya Rukirabashaija okudduka mu ggwanga, Minisita Baryomunsi yategeezezza nti ono yazza omusango era n’asimbibwa mu kkooti era ne yeeyimirirwa naye olw’okusalawo kwe n’okwagala okukola ebintu nga bw’alaba yasazeewo okudduka mu ggwanga.
Baryomunsi agamba nti olw’okuba yadduse tekitegeeza nti gavumenti egenda kumulondoola emukomyewo kuno.









