Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Abakulembeze mu Buganda batabukidde Sipiika wa Palamenti Anita Among olw’okwawulayawula mu bantu n’okulaga obukyaayi ku Buganda byeyabadde akubiriza olukiiko okusalawo obanga ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kiteekebwe wansi wa Minisitule y’ebyobulimi.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi ng’ono ategeezezza nti ebigambo bya Sipiika byabamazeeko ebyewungula kubanga tebamusuubira kubeera na ludda nga bwekyeyolese era abivumiridde nnyo. Wabula ono ajjukizza Sipiika nti ensonga teyabadde ya Baganda bokka wabula yabadde ya bannayuganda bonna.
Ssentebe w’Akabondo k’ababaka ba Palamenti abava mu bitundu bya Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi agamba nti agenda kuyita ababaka b’akulembera basalewo kyebazzaako ku nsonga eno kubanga mu mateeka Sipiika talina kulaga ludda era nti singa abadde mu mawanga agamu, kati yandibadde yalekulidde dda.
Ono era ategeezezza nti okubeera Omuganda ssi musango era ekyo Sipiika Annet Anita Among asaana akimanye
Ye Loodimmeeya wa Kampala, Erias Lukwago anyonnyodde nti ebigambo Sipiika byeyakozesezza bimenya mateeka ate musango gwa nnaggomola era biyinza n’okuvaamu ekitirimbula bantu.
Eyali minisita w’ebyobulimi n’obulunzi era omuwabuzi wa Pulezidenti, Vicent Ssempijja agambye nti agenda kunoonya Sipiika boogeremu ku nsoga z’ebigambo bye ebyasiikudde emeeme z’Abaganda. Minisita Ssempijja era asekeredde abakubagana empawa olw’ennongoosereza mu tteeka ly’emmwanyi n’abawa amagezi nti bwebaba baagala okuziggusa obulungi bagende bamwebuuzeeko abeeko byababalambululira kubanga yeyaleeta etteeka eryo.
Eggulo Sipiika Among yawulikise ng’akunga abamu ku babaka ba Palamenti okulemesa ababaka abava mu Buganda okuyisaamu enteekateeka yabwe ey’okulemesa ekiteeso kino era kino bangi baakitapuse nga okuba n’enge ku Baganda