Bya Musasi Waffe
Ssingo
Omumyuka ow’okusatu ow’omwami akulembera essaza Ssingo, Stephen Jjumba asabye abakulembeze okuweereza n’obumalirivu basobole okuggusa obuvunaanyizibwa bwabwe mu budde.
Obubaka buno Jjumba abuwadde atongozza obukiiko bw’ebitongole bisatu ebinayambako okutambuza emirimu mu ssaza Ssingo ku Lwokuna.
Omw. Jjumba ategeezezza nti essaza lirina enteekateeka nnyingi ezigenderera okukulaakulanya abantu ba Kabaka ate nokukyusa endabika y’Embuga naye nga ekyo kyakutuukibwako singa abakulembeze nenkiiko zonna mu ssaza zikola obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ono alambuludde enteekateeka y’Omulabba egenda okutandikibwako ng’eno Mukwenda waakutalaaga essaza lyonna ngasisinkana abantu ba Kabaka okuwaayo ensimbi okuwanirira enteekateeka ya Bbulula Matutuma ngeno era erimu okuddaabiriza ennyumba y’Embuga ya Ssingo, okuzimba bbugwe ku mbuga ate nokuzimba ekkadiyizo ery’omulembe ku kitebe ky’essaza.
Ku nkiiko ezitongozeddwa kuliko olwa Bulungibwansi olukulirwa Muky Namutebi Lachan Emily, olwebyobulimi olukulirwa mwami Muyimbwa Frank ssaako olukiiko lw’ebyobulamu olukulirwa Mukyala Namirembe Stella nga abakiise ku nkiiko zino bavudde mu ggombolola ezikola essaza Ssingo.
Mukwenda yeebazizza olw’okubugu obutunuuliddwa mukutondawo enkiiko esatu zino nalaga essuubi nti zigenda kukola nnyo okutumbula embeera y’abantu ba Kabaka mu ssaza Ssingo.
Abakiise banjulidde Mukwenda enteekateeka zebalina eri essaza nengeri gyebagenda okutambuzaamu emirimu gyabwe, bwebatyo nebeebaza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka okubalengera nabawa obuvunaanyizibwa buno mu ssaza Ssingo.