Bya Ssemakula John
Kampala
Kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines yaakuddamu okukola ku ntandikwa y’omwezi ogujja oluvannyuma lw’okumala emyezi mukaaga nga tetambuza bantu olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Kino kyaddiridde ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekyaguddewo ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ku Ssande bwe yategeezezza ng’ekisaawe bwekiri ekiggule eri abalambuzi ne bannayuganda abaagala okudda ku butaka.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa kkampuni eno, omwezi ogujja bagenda kuddamu okukola kinawadda.
“Tugenda kuddamu okusaabaza abantu era nga tugenda kusooka n’eng’endo nnya okuli; Nairobi, Dar es Salaam, Juba ne Mogadishu. Eng’endo endala zetwalina okuli; Bujumbura, Kilimanjaro, Mombasa ne Zanzibar tujja kuzigattako mu maaso awo.” Ekiwandiiko bwe kyalaze.
Bano bannyonnyodde nti baakugenda mu maaso n’entegeka zaabwe ez’okugaziya entambula z’ennyonyi zino era basuubira mu maaso awo baakutongoza okutwala abantu e Johannesburg, Kinshasa, Harare ne Lusaka.
Balaze nti, beetegefu okulaba nga bakuuma abasaabaze baabwe nga balamu nga baakukwasisa ebiragiro ebitangira ekirwadde kya COVID-19 ebyaweebwa kkampuni z’ennyonyi mu nsi yonna.
Kimanyiddwa nti okuva kkampuni eno lwe yazzibwawo esaabazza abantu ku ng’endo ez’enjawulo era yakoze kinene mu kuyamba okuzza ku butaka bannayuganda ababadde basiraanidde ku mawanga olw’ekizibu kya COVID-19.