Bya URN
Kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines erangiridde olwaleero nti eyimirizza engendo zaayo mu bibuga Mogadishu ekya Somalia, Kirimanjaro ne Zanzibar ebya Tanzania, Bujumbura ekya Burundi wamu ne Mombasa ekiri mu Kenya olw’ekirwadde kya senyiga wa Coronavirus amanyiddwa nga COVID19.
“Oluvanyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya COVID-19 wamu n’obukwakkulizo obuteereddwawo amawanga ag’enjawulo okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kino, twagala okutegeeza nti tugenda kukyusaamu mu ngendo zaffe,” bwekityo ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba Uganda Airlines bwekyategeezezza.
Engendo zino zigenda kusazibwamu wakati wa March 20 ne 23.
Ekirwadde kino kya balukawo mu kibuga kya Wuhan ekiri mu China ku nkomerero y’omwaka oguwedde era nga wetwogerera bino kyakatugumbula abantu abasukka mu 7500 mu nsi yonna.
Wano ku lukalu lwa Africa, abantu 300 bebaakazuulibwa n’ekirwadde kino mu mawanga 25.
Balirwana ba Uganda omuli Kenya, Tanzania, South Sudan, DR Congo ne Rwanda gonna ekirwadde kino kyagobyeyo dda.
Olwaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kwogerako eri eggwanga ku nteekateeka gavumenti ye gy’erina okulwanyisa ekirwadde kino nnamuzisa.
Gyebuvuddeko, minisitule ekola ku by’obulamu yawera abantu
abava mu mawanga omuli Italy, San
Marino, Iran, South Korea, France, China, Germany, Spain, Belgium, USA, United
Kingdom, Netherlands, Sweden, Norway, Austria ne Malaysia okujja mu Uganda olw’okutya
okujja n’ekirwadde.