
Bya Ssemakula John
Kampala
Abaddukanya omutimbagano gwa Twitter baggadde ebibanja by ‘abawagizi b’ Omudduumizi w’eggye ly’okuttaka mu UPDF,Lt Gen Muhoozi Kainerugaba.
Gyebukeeredde ku Lwokubiri nga bangi ku bano tebasobola kuyingira munda mu bibanja byabwe ku mutimbagano guno ekibaleetedde okutegeeza nga bwebayiganyizibwa olw’endowooza z’ ebyobufuzi zebalina.
Wadde ekituufu ku nsonga lwaki emikutu gino gigaddwa tekinamanyika wabula bategeezezza nti bwebalwanye okugezaako okugiyingiramu bategeezeddwa nga bwebamenye agamu ku mateeka agafuga omutimbagano guno.
Twitter yategeezezza nti bano baziimudde agamu ku mateeka naye nesuuubiza okukwatagana ne bannanyini bibanja bino abalowooza nti ekyakoleddwa kyabadde kikyamu era bwezinazuulwa nti yabadde nsobi bakugibaddiza.
“Ekibanja ky’omuntu bwekikozesebwa okuvuma omulala oba okutiisatiisa tusobola okukiggala okumala akaseera oba okukiggalira ddala,” Twitter bwe yannyonnyodde.
Bano bagamba nti era kisoboka okuggala ekibanja ky’omuntu singa wabaawo abagezaako okukikikitanya okukiyingiramu nga kino kikolebwa okutaasa nnyini kyo.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde, Gen. Muhoozi yawannulayo ekibanja kye ku mutimbagano gwa Twitter ku nsonga ezaali zitamanyiddwa wabula oluvannyuma yategeeza nti yalina okusalawo kweyalina okusooka okukola.
Muhoozi azze agumya abawagizi be okubeera abanywevu era oluvannyuma lw’akaseera ono ekibanja kye yakizzaayo ku Twitter negyebuli kati agukozesa wadde abantu abenjawulo mu ggwanga bazze bamukolokota nti agukozesa okuzannya eby’obufuzi ebyawula mu bantu ate nga munene mu maggye.









