Ensangi zino abantu bangi basaasaanya obutitimbe bw’ensimbi nga bategeka emikolo egy’obufumbo omuli okwanjula n’embaga, era bawaayo obudde obuwerera ddala okunoonya ensimbi okuva mu mikwano wamu n’abooluganda.
Kuno bassaako okunoonya bye beetaaga okulabikira ku mikolo gyabwe okuva mu bantu abatali bamu be beekakasa be basinga okukola oba okubeera n’ebyomutindo ebikwatagana ne kye baagala omuli; abafumbi, abatimbi, aboogezi, ab’ebidongo n’abalala.
Ebirabwa ku mikolo gino ekyamazima abagyetabako basigala bagyegomba wamu n’okwesiimisa abo Katonda babeera asobozeseza okugikola era bavaawo bamativu nti abantu bano obulamu bwabwe obudddiririra bugenda kubeera bwassanyu gyereere.
Okunoonyereza kwange kundaze nti ekyamazima abantu abasinga essanyu likoma ku nnaku abantu kwe bakoleera emikolo gino wadde nga twandisubidde nti kuno kwe kwandibadde okwongera okunyweza essanyu wakati wababiri bano.
Ensonga eziwerako ze tuyinza okwekwasibwa lwaki eryandibadde essanyu liggweera mu maziga omuli; abakyala okuwaliriza abaami baabwe okukola emikolo gino nga tebanneetegeka bulungi, abantu okukola emikolo egiri waggulu n’obusobozi bwabwe ne bamalira mu mabanja, amakanisa naddala agabalokole aganguyiriza okugatta abantu naddala abavubuka nga tebannawangaalira wamu okumala akaseera akaweerako, okusoomoozebwa okuyinza okuleetebwa abooluganda okuva ku njuuyi zombi n’ebirala.
Wadde ng’ebyo byonna biri awo ensonga esinga obukulu etwaliramu endala zonna, yeetololera ku kubeera nti abantu abayingira obufumbo ennaku zino tebeetegeka ate era tebategekebwa.
Omwana omulenzi wamu n’omuwala beesanga mu bifo ebitali bimu okuli; ku mirimu, mu mabaala, mu ntambula ey’olukale, mu masinzizo oba awalala wonna, ne basimagana era ne batandika okusisinkana. Wayita omwezi gumu nti tugende tukyale ewaffe – kwe kukyala, kwe kwanjula sinnakindi nga n’embaga mu bbanga eritasukka mwaka nayo ng’ewedde.
Mu mazima ddala mu bbanga eryo n’obwangu obukozeseddwa, bano ababiri beetegese bulungi oba abalina okubategeka bafunye bulungi obudde obubategeka? Ekituufu kiri nti nedda.
Nazzikuno obuvunaanyizibwa bw’abantu buli omu okufuna omubeezi bwabeerangamu omukono gw’abazadde butereevu era nga wabeerawo okunoonyereza ku njuuyi zombi ku bikwata ku maka omwana waabwe mw’agenda okuwasa oba okufumbirwa. Bwe kyazuulibwanga ng’amaka galimu ebitali byabulijjo gamba ng’emize gy’obubbi, obusezi, obulogo, okuyombayomba, okukuba abakazi, obutayagala kukola, obugumba, obucaafu, ebirwadde ng’ensimbu, okutabuka emitwe, ettamiiro erisusse, okuzaala abaana abaliko obulemu n’ebirala, awo ng’abazadde tebayinza kukukkiriza kuwasa oba kufumbirwa mu nju bw’etyo.
Bwe wataabangawo nsonga ndala eyinza okufuuka omuziziko mu kufumbiriganwa kw’abaana bano ababiri, awo nno ng’emikolo gigenda mu maaso. Bwe waabeerangawo ensonga ng’omulenzi oba omuwala bamunoonyezaako omubeezi mu maka amalala .
Bano bombi abazadde baagendanga okutandika okubalowooleza okubayambako mu kunoonya ababeezi nga bamaze okubateekateeka obulungi era nga basaanidde okugenda ku ddaala ly’obufumbo.
Omuwala, bamaama ne bassenga baamukolangamu omulimu n’omulenzi kitaawe ne bakojja be nga bawaayo obudde okumubuulira omusajja omufumbo bwe yeeyisa.
Mu bimu ebyalinga ebikulu ku muwala mwe mwalinga okuteekateeka omubiri gwe, okumuyigiriza emirimu gy’awaka omuli; okufumba, okulera abaana, okwala obuliri, okwoza engoye n’ebintu, okubuuza, okuluka ebibbo wamu n’okuddaabiriza ebiba by’ononose mu maka ge ougeza engoye.
Kuno bassangako okumubuulira ebitalina kukolebwa mukazi mufumbo wamu n’ebisoomoozo by’ayinza okusanga mu bufumbo ebitali bimu omwalinga omwami okusajjalaata, abooluganda lw’omwami we, omusajja okubeera omutamiivu n’ebirala era nga nabyo bamubuulirira engeri gy’ayinza okubivvuunuka.
Owoobulenzi naye mu ngeri y’emu baamubuuliranga ebikolebwa omusajja omufumbo ebyasing’anga okwetoololera ku kubeera n’obuvunaanyibwa wamu n’okubeera omukozi okusobola okuyimirizaawo amaka ge.
Wadde ng’emirembe gikyuse nti enkola ey’abazadde okwenyigira obutereevu mu kufunira abaana baabwe ababeezi tekyali nnyangu, naye era tekiggyaawo buvunaanyizibwa bwabwe bwe balina mu kubuulirira abaana baabwe abatuuse okuwasa n’okufumbirwa.
Abazadde ffenna tusaana essira tulisse nnyo ku kuteekateeka abaana ku ngeri gye bakolamu wamu n’okuwangaalira mu bufumbo okusinga okubategekera emikolo egisasamaza ng’ekinyusi ky’emikolo egyo tekifiiriddwako.
Tusaana tukimanye nti teri kiswaza nga baana kukola mikolo gya buwanana ate mu bbanga ttono obufumbo ne busasika ku busonga obutaliimu omuntu eyatuuzibwa bwe yandibadde agumira.
Kale okwewala embeera bw’etyo, tusaanye twetegekere era tutegeke nnyo obufumbo okusinga okutegeka emikolo gy’obufumbo.
Wangaala ayi Ssabaasajja
Omuwandiisi musomesa era muluŋŋamya wa mikolo
0702740754