Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezeza nti Buganda yeetaaga enfuga eya Federo efune obuyinza okukuuma eggwanga ng’eyita mu kulwanirira obutonde bw’ensi kiyambe Uganda obutafuuka ddungu.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti kumpi buli lunaku waliwo abantu abazimba amakolero mu ntobazzi, abasaanyizzaawo ebibira wamu n’okusima omusenyu mu nnyanja n’ebikolwa ebirala ebityoboola obutonde bw’ensi.
“Mukama wange abantu bonna abampandiikira amabaluwa ku nsonga eno, bang’amba nti baako ky’okola naye tetulina buyinza kubonereza abo abatyoboola obutonde bw’ensi. Kye tuva tukidding’ana nti twetaaga enfuga eya Federo.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza ku mukolo gw’okujaguza
Ameefuga ga Buganda aga 58 mu Lubiri e Mmengo, leero ku Lwokuna.
Mayiga agasseeko nti abantu abasaanyaawo obutonde bw’ensi beegiriisa
awatali abagambako ate nga ne Buganda eyandibakomyeko terina buyinza era n’ayaniriza omugenyi wa Kabaka okuva mu Adhola Josephat Oketcho Chombo. Ono asiimye bannamikago olw’okukwatira awamu ne bategeka omukolo guno.
Mayiga agambye nti ku lunaku lwa 8/10, Omulangira wa Bungereza, Kent lwe yazza endagaano zonna Bungereza ze yakola ne Buganda era enkeera waalwo Uganda n’efuna obwetwaze.
Katikkiro annyonnyodde nti omukolo gwa bulungi bwansi ne gavumenti ez’ebitundu ezaagattibwa zirimu emiramwa mingi naye ng’ekisinga obukulu kwe kujjukira Ameefuga ga Buganda.
Asabye abantu ba Buganda okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era baleme kukkiriza ekirwadde kya Ssennyiga Corona kubalemesa kubutuukiriza. Katikkiro yeebazizza bannamawokota olw’okuwangula engabo y’essaza erisinze era n’akuutira amasaza amalala okulikoppa.
Ate ye Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, awozezza Olutabaalo mu maaso g’Empologoma n’ategeeza nti omutindo gw’obuweereza bw’amasaza eri abantu ba Beene gulinnye olw’ekirabo ky’essaza erisinze, okuteekebwawo. Ono oluvannyuma ayise Kayima okugenda mu maaso g’Empologoma asobole okukwasibwa ebirabo.
Minisita w’obulimu n’obutonde mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, ategeezezza nti baalonze omulamwa gwa ‘Abaami n’obutonde’ omwaka guno okusobozesa abaami ba Kabaka okufaayo ku butonde era babulwanirire.
Ayanjulidde Nnyinimu abamu ku bannamikago abayambyeko mu lutalo lw’okutaasa obutonde era nga bano mulimu; Naturing Uganda, Save the Planet n’abalala.
Owek. Mayanja agamba nti ku mulundi guno essira balitadde ku kusimba emiti ginnansangwa.
Kayima Gabriel Kabonge agambye nti ekyama kyabwe kibadde mu kukolera wamu n’abamyuka be era neyeebaza Beene olw’okusiima n’abawa obuvunaanyizibwa okulabirira essaza lye ery’e Mawokota.
Omukolo gwetabiddwako abagenyi ab’enjawulo okubadde; Omulangira Joseph Kintu Wasajja, omumyuka wa Katikkiro asooka Owek. Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek. Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwagga, Minisita w’amawulire Noah Kiyimba, Minisita Joseph Kawuki.
Abalala kuliko; bannabyabufuzi okuli Loodimmeeya Erias Lukwago, Omubaka Muyanja Ssenyonga, Ma awamu n’abakulembeze mu gavumenti ez’ebitundu.