• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Tusaba gavumenti ejjulure abajaasi abali ku mbuga ya Kaggo – Minisita  Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
December 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Tusaba gavumenti ejjulure abajaasi abali ku mbuga ya Kaggo – Minisita  Kyewalabye
0
SHARES
160
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis  Ndugwa

Bulange – Mmengo

Minisita w’eby’obuwangwa, ennono, obulambuzi, embiri, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male  asabye gavumenti okusengula basajja baayo abasimba amakanda ku mbuga ya Kaggo e Kasangati kuba bazibuwazizza emirimu ku mbuga eno.

Okusaba kuno Owek. Male akukoledde mu bimuli bya Bulange bw’abadde atikkula oluwalo lwa bukadde obusobye mu 70 okuva mu masaza okuli Kyadondo , Butambala ne Bugerere ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Lwokubiri.

“Bweba gavumenti yakomyawo ebintu byaffe ereme kutuleetera kukangula ku ddoboozi okubituddiza n’olwekyo nsaba gavumenti ejjulure abaami abali ku mbuga ya kaggo, embuga eno esobole okwegazaanya. Kaggo tasobola kuyita mu misanvu okutuuka wajja obuvunaanyizibwa bwe. Sserwajja okwota tasobola kukiza nnyinimu ntanama,” Owek. Kyewalabye bw’agambye.

Kino kiddiridde abamajje abeesenza ku mbuga eno okugaana Kaggo okugiyingiramu Sabiiti ewedde bweyali agenda okusisinkana abakulembeze abalondebwa mu kitundu ekyo awatali kumuwa nsonga yasimba.

Okusinziira ku Minisita Kyewalabye bwotunuulira ekizimbe Bulange olabira ddala ensonga lwaki  Buganda esaana okwekolera ku nsonga zaayo.

Owek. Male asabye abantu mu Buganda okunyweza enkola za Bulungibwansi okusobola okukuuma abantu ba Kabaka nga balamu, era bakole ebyooto buli kiseera ekigere okusobola okulambika abantu ba Nnyinimu obulungi.

Ono abasabye okunyweza olulimi lwabwe kuba singa lusaanawo ne Buganda ejja kusaanawo kuba emiti emito gikuziddwa mu mpisa eng’enyi kuba okunnoonyereza kulaze nti abaana abato basobola bulungi okukwata ennimi eziwerako.

Owek. Kyewalabye yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okukuumira abantu ba Kabaka awamu era nebasobola okulaba obukulu bw’okuvugirira Nnamunswa naddala mu kiseera kino nga Buganda tesolooza musolo.

Ate Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki awadde abaami  ba kabaka nabakulembeze mu bwakabaka ku mitendera egy’ enjawulo okubeera abamalirivu okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Omwami   atwala essaza lye Kyaddondo,  Kaggo Agnes  Nakibirige Ssempa ku lwabaami bamasaza yeebaziza abantu ba kabaka abafaayo okutuukiriza obuwangwa bwabwe  nga beetaba mu nteekateeka ezitumbula Buganda

Abaami b’Eggombolola beebaziza kabaka olw’ enteekateeka zasaawo okutumbula embeera zabantu era nebawera okuweereza awatali kutiirira  Mpologoma.

Mungeri yeemu bano bakiise embuga baleese amakula awamu  namantambuntambu  Katikkiro .

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Buganda KingdomDavid Kyewalabye MaleJoseph KawukiKatikkiro Charles Peter Mayiga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.