
Musasi waffe
Omukka ogubalagala gunyoose ku kitebe ky’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change [FDC] nga poliisi yeezooba n’abakazi ababadde bagala okutambula okwolerekera ekitebe kya poliisi ekikulu mu Kampala. Abakazi ba FDC ababadde nga 30 babadde bakutte ebipande nga biraga okwemulugunya kwabwe eri poliisi olw’okukozesa obukambwe obusukiridde ku Bbalaza ya wiiki eno nga bakwata eyali Ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kizza Besigye. Poliisi yafuuyira Besigye amazzi okuva mu kimotokota kyayo agaali gamuwanudde ku mmotokaye waggulu gyeyali ng’awuubira kubantu. Era poliisi yakuba amukka ogubalagala mu bantu babulijjo ekyaleetawo akajagalalo mukabuga ke Kireka ne Banda. Abakazi bano babadde batwala kiwandiiko kyabwe eri poliisi wamu ne palamenti. Mukavuvungano kano abakazi abawerako bakwatiddwa nebatwalibwa ku poliisi ez’enjawulo.