• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose e Mbale nga ogwa Kyagulanyi guwulirwa

Gambuuze by Gambuuze
August 26, 2020
in Amawulire
0 0
0
Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose  e Mbale nga ogwa Kyagulanyi guwulirwa
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Mbale

Embeera ebadde ya bunkenke ku Lwokusatu ku kkooti e Mbale ng’Omulamuzi,addamu okuwulira omusango Omubaka Robert Kyagulanyi gweyawaabira abakulu mu poliisi olw’okumulemesa okukyala ku leediyo ya BCU ku ntandika y’omwezi guno.

Omubaka Robert Kyagulanyi ku kkooti e Mbale

Abangi ba Kyagulanyi baakedde mu bungi okweyiwa ku kkooti era olwamulabye nebagala okuyingira naye munda mu kkooti ekintu poliisi kyeyagaanye nga egamba nti kivvoola ebiragiro bya COVID-19.

Kino abawagizi ba Kyagulanyi bakigaanye ekyawalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala wamu n’okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Omu ku bawagizi yagambye nti, “Eno kkooti kifo kyalukale, tewali nsonga lwaki batugobaganya, kuno kuwamba kkooti kwenyini, tetugenda kukkiriza Pulezidenti waffe kuyingirayo yekka.”

Oluvanyma Kyagulanyi ne bannamateeka be bayingidde munda mu kkooti era okuwulira omusango nekutandika wakati mu kubwatuka n’okwesooza kw’amasasi wabweru wa kkooti.

Abawawaabirwa  okuli; RDC w’e Mbale, DPC, OC ne DISO bonna babaddewo mu kkooti ate nga Ssaabaduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola yakikkiriddwa bannamateeka be era omusango negugenda mu maaso.

Wabula omulamuzi Andre Katumbuki yategeezezza nti, “Olwokuba wabaddewo okulemwa  okuziyiza abantu okubeera abangi, omusango guno gwongeddeyo okutuusa nga embeera eteredde.”

Kino bannamateeka ba Kyagulanyi bakiwakanyizza nga bagamba nti tekyabadde kya bwenkanya eri omuntu wabwe.

Munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Ssegona yategeezezza, nti tebamatidde nansalawo ya mulamuzi kubanga tewali amanyi ddi COVID-19 lwanaggwawo omusango guddemu okuwulirwa.

Ssegona yagambye nti bakutuula n’omuntu wabwe balabe ekiddako.

Kyagulanyi yagambye nti, “ Kkooti eri mu buwambe, tulina okulowooza nti omulamuzi naye bamuwadde ebiragiro kubanga agaanye okuwulira omusango gwaffe era kino tetukirabangako.”

Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwezi guno abapoliisi balemesa Omubaka Robert Kyagulanyi okugenda ku leediyo ya  BCU  gyeyali ayitiddwa okukubaganya ebirowoozo.

Share this:

Tags: Bobi WineMedard SsegonaNUPRobert Kyagulanyi
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist