• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ttabamiruka w’ Abakulira Nkobazambogo aggaddwawo, Minisita Sserwanga abasabye okwenyigira mu nkulaakulana n’obukulembeze

Gambuuze by Gambuuze
January 19, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Ttabamiruka w’ Abakulira Nkobazambogo aggaddwawo, Minisita Sserwanga abasabye okwenyigira mu nkulaakulana n’obukulembeze
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Sserwanga  asabye abakulembeze ba Nkobazambogo okulabikira mu nteekateeka zonna eziba zigunjiddwaawo  mubitundu gyebawangaalira ku mitendera gyonna  kiyambeko mukugumiza ekitiibwa  ky’ekibiina kino.

Okwogera bino Minisita Sserwanga abadde aggalawo Ttabamiruka w’Abakulembeze ba Nkobazambogo olutudde ku Bulange ku Lwokutaano okulaba engeri ekibiina kino kyekisobola okugenda mu maaso n’okwekulaakulanya ng’ono abadde akubirizibwa Omw. Mukuye Gerald.

 Ono asabye abavubuka okukomya okwebulakanya, era bave mu kwogera benyigire mu mirimu gy’Obwakabaka n’enteekateeka zonna ezigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko.

Wano era wayanjulidde obukulembeze bw’Abavubuka ku mitendera egy’enjawulo nga bwebwakola omwaka oguwedde.

Owek. Sserwanga asinzidde wano naabasaba okutandika okweteekateeka kuba wagenda kubaawo enteekateeka ya bannakibiina ki Nkobazambogo okutwala ettu mu Bwakabaka ng’eno egenda kutandika omwaka guno.

Owek. Dr.Rashid Lukwago Omukiise w’Abavubuka mu Olukiiko lwa Buganda abasabye  okubeera  ekyokulabirako ekirungi eri abantu abalala nokukuuma ekitiibwa kya Buganda mu mbeera zonna.

Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Ssejjengo Baker yeebazizza Ssaabasajja olw’okuteeka mu bavubuka obwesige n’abawa omulembe gwe bwatyo n’asaba abavubuka bonna mu Buganda obutekiriranya wabula okwogeza eddoboozi ery’awamu ku nsonga za Buganda efune omugabo gwaayo mu Buganda eyawamu.

Omuk. Ssejjengo yeebaziza ebibiina by’Abavubuka eby’enjawulo olw’emirimu egikoleddwa omwaka oguwedde n’abasaba omwaka guno bongeremu amaanyi.

Ssentebe wa Nkobazambogo mu Ggwanga, Mw. Kakeeto Hannington Sseremba yeebaziza Kabaka olw’okwagala Bannankobazambogo bwatyo n’asaba baakulembera obutaatirira Nnamulondo.

Kitegeerekese nti essaza Kyaggwe lye lisinze mu Masaza gonna  mu kukola emirimu, Akeezimbira ky’ekibiina ekisinze, Makerere University yeesinze mu matendekero ate St. Janan S.S neesinga mu masomero ga Siniya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist