Ticket z’omupiira gw’akamalirizo zituuse ku katale era nga zino zitongozeddwa minisita w’Obwakabaka bwa Buganda ow’ebyemizannyo Oweek. Henry Sekabembe Kiberu.

Ticket abazagala muzigule okuva mu bifo bino ebitongole; Amaduuka ga Airtel gona okwetolola eggwanga; Kampala road, Kikuubo, Kiseka market, Lugogo, Masaka, Luwero, Bulenga, Kajjansi. Ku masundiro g’amafuta aga Total Shops mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo; Nateete, Masaka-Nyendo, Entebbe, Kasana, Kyengera, Namasuba, Luwero, Kasangati, Bweyogerere, Mukono. Ku Centenary Bank; Masaka, Mukono, Luwero, Mapeera. Ebifo ebirala; Hardware world, Namboole, Bulange, Wakiso Giants shop.
Omupiira gw’Amasaza ogw’akamalirizo gwakuberayo nga 26/10/2019 mu kisaawe e Namboole era nga Ssaabasajja Kabaka yasiima okuguggalawo wakati wa Bulemeezi ne Busiro. Ku lunaku lwelumu wagenda kusookawo omupira wakati wa Buddu ne Kyaddondo nga kuno anawangula yaggya okukwata ekifo eky’okusatu era nga guno Katikkiro Charles Peter Mayiga yagenda okuba omugenyi omukulu.