
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka nga buyita mu Minisita w’ Amawulire, Owek. Israel Kazibwe Kitooke butangazizza ku nsonga za Buganda okuggyibwa ku maapu ya Uganda nebukakasa nti tewali asobola kuwangula Buganda mu Uganda eyawamu.
Obubaka buno, Owek. Kitooke abuwadde bannamawulire mu Bulange e Mmengo ku Mmande oluvannyuma lwa maapu endala okufuluma ng’ era Buganda teriiko.
Owek. Kazibwe ategezeeza nti abatambuza maapu eno bagenderera kuggya Bwakabaka ku mulamwa naddala ku nteekateeka eziriwo ezizza Buganda ku ntikko.
Minisita Kazibwe agumizza Obuganda nti tewali asobola kusangula Buganda ku maapu, wadde okugisanyaawo, anti n’ebyafaayo byonna biraga enkizo ya Buganda mu kutondebwawo kwa Uganda eyaawamu.
Ono annyonnyodde nti ensonga eno yavaayo emabegako era Maasomoogi ku mazaalibwa ge ag’emyaka 63 yajogerako n’alabula abakola kino nti bakikola mu bukyamu, era Nnyinimu n’asaba Obuganda okwegendereza abakola kino.
Oluvannyuma ab’ekitongole ki UBOS ekibala abantu mu Uganda, bavaayo ne beetondera Obwakabaka okuba nti nabo baali bafulumizza maapu ekikula kino, era bwe baasisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne basuubiza okutereeza ensonga eno.