Bya Gerald Mulindwa ne Francis Ndugwa
Mmengo
Katikkkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti nga Buganda tebandyagadde kufuna mukulembeze atakiika Mmengo kuba ensonga za Buganda abeera tamanyi ngeri yakuzikwatamu.

“Ffe Kabaka ye Kitaffe eno y’embuga ye, era saagalira ddala kuwulira munnabyabufuzi ang’amba nti nze ebya Buganda tebimukwatako ng’ali wano mu Buganda. Oba ebya Buganda tebikukwatako genda okiikirira ab’e Pongdong yo tewaliiyo bifo bironderwamu, lwaki oyagala okwesimbawo mu Buganda nga ebya Buganda tebikukwatako?” Mayiga bw’agambye.
Bino Katikkiro abyogeredde mu nsisinkano n’ekibiina ky’abakyala abakatoliki ab’ekibiina kya Abassa ekimu okuva e Rubaga ababadde bakiise Embuga n’ettu lya ssekukkulu.
Owek. Mayiga bannabyabufuzi abawadde amagezi okukulembeza ensonga za Buganda basobole okufuna emikisa n’obuwagizi bw’abantu ba Buganda kuba Kabaka gwe mutwe.
Ono asabye abantu okujjumbira okulonda kw’omulundi guno wadde nga waliwo okusoomoozebwa era balondoole okulonda kuno era banoonyeze abalimu ensa obululu, basobole okuwangula
Kamalabyonna agamba nti tekisoboka kuzimba ggwanga Uganda okuggyako ng’abantu bawang’ana amagezi. Agasseeko nti obwegassi mu bibiina eby’enjawulo kiyamba okuwang’ana amagezi ne basobola okukulaakulana, bw’atyo asiimye ekibiina kino olw’okwolesa obumu.
Owek. Mayiga ategeezezza nti eggwanga lyetaaga bannabyabufuzi abalimu ensa era abajja okukiikirira abantu n’obuvunaanyizibwa.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akuutidde abantu ba Beene okwongera okusengejja abeesimbyewo bakole okusalawo okulungi.
Abakiise Embuga, babadde bakulembeddwamu Omumbejja Eugenia Nassolo era ng’oggyeeko okugula Satifikeeti z’Obwakabaka, Katikkiro bamutonedde ekirabo kya Ssekukkulu.
Omumbejja Nassolo ayanjulidde Katikkiro Mayiga enteekateeka z’okwesimbawo ku bubaka bwa Lubaga South mu Palamenti era n’awera okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano bw’anaaba alondeddwa.
Nassolo annyonnyodde nti ekitundu kya Lubaga South kikulu nnyo mu Buganda kubanga kye kirimu ebifo bya Buganda ebyenkizo nga mwemuli; Olubiri lw’e Mmengo, Bulange, Olubiri lwa Mujaguzo wamu n’ebifo ebirala, nga byetaaga omuntu ategeera ensonga za Buganda.
Bano baguze Satifikeeti okusobola okuzza Buganda ku ntikko era ne beetikka ettu okusiima Katikkiro Mayiga olw’okukulembera obulungi Obuganda.









