
Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda mu ggwanga bategeezezza nga bwe batayigganya basiraamu nga bwe bibadde byogerebwa mu bikwekweto bye baliko eby’okunoonya abo bonna abalina akakwate ku bayeekera ba Allied Democratic Forces(ADF) abandise okukola ebikolwa by’obutujju ku bannayuganda.
“Twagala okukiggumizza nti abantu bakwatiddwa tetulina olw’enzikiriza zaabwe oba amawanga gwabwe kuba awo tubeera twekubidde. Eggwanga lirina okumanya nti abo be tukwata be beetabye oba okubaako engeri gye beenyigira mu bikolwa by’obutujju awamu n’obumenyi bw’amateeka.” omwogezi wa Poliisi, Fred Enanga bwe yategeezezza ku Mmande.
Kino kiddiridde abakulembeze b’abasiraamu mu ggwanga okulangira ab’ebyokwerinda okuyigganya abasiraamu mu bikwekweto bye baliko eby’okuzuula abatujju ba ADF, abakolagana nabo wamu n’abo ababateekamu ssente.
Mu bikwekweto bya poliisi by’ekoze abamu ku battiddwa awamu n’okukwatibwa basiraamu, abakulembeze kye bagamba nti kikyamu okusiba ebikolwa eby’obutujju ku busiraamu kuba eddiini yaabwe ya mirembe.
Wabula Enanga agamba nti ebikwekweto byonna bye bakola babyesigamya ku bukessi era abo bonna be basobodde okukwata balina kye bamanyi ku kabinja ka ADF akasinziira mu ggwanga lya Congo okutigomya Uganda.
Okusinziira ku Enanga, abantu abawera 106 be baamaze edda okukwatibwa mu bikwekweto bye baliko era bonna bano balina kye bamanyi ng’abamu babadde bateekamu ssente ate abalala nga bakunga bannayuganda okwegatta ku kabinja kano.
“Mu bikwekweto bino tubadde twawulamu abo abalina kye bamanyi, tetumaze gakwata buli gwe tusanze era tujja kugenda mu maaso n’ebikwekweto bino era mbakakasa nti abo bokka abalina akakwate ku kulumba eggwanga be tujja okusigaza.” Enanga bwe yagasseeko.
Ono yannyonnyodde nti omuntu singa anaaba yeenyigidde mu bikolwa ebimenya amateeeka g’eggwanga tebajja kumutaliza olw’eddiini gy’asoma oba endowooza ye wadde ekitiibwa ky’alina kuba ekikulu gye mirembe gya bannayuganda era oyo yenna agirinnyirira ajja kusimbibwa mu mbuga z’amateeka abitebye.
Enanga asabye bannayuganda okwewala okwetaba mu bikolwa by’obutujju era beekengere abantu be batategeera era bategeeze ab’obuyinza mu bwangu.









