Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti tekisoboka kuzza Buganda ku ntikko ng’abantu ba Kabaka baavu. Okwogera bino, Mayiga abadde mu ssaza ly’e Butambala mu kulambula abalimi mu nteekateeka ya ‘Mmwanyi Terimba.’ “Tetusobola kuzza Buganda kuntikko nga twegomba abagagga naye nga tetwegomba byebakola. Tetwagala Buganda ejoogebwe, muyimba nti ekitiibwa kya Buganda kyavadda, munaakikuuma mutya nga temulina yadde ekikumi mu nsawo? Abaganda ab’omulembe Omutebi mwebeereremu, ate okwebeereramu kutandikira mukwekolera tulekerawo okujoogebwa,” Mayiga bwagambye. Yategeezezza nti okulima n’okulunda wamu n’obusuubuzi byebigenda okuwonya abantu abasinga obungi mu Buganda obwavu. Wabula Mayiga agambye nti buli mulimu gwonna gulina ebisoomoozo n’olwekyo n’akubiriza abantu bulijjo okusala amagezi ag’okuvvunuka ebisomooza ebyo.
“Sagala muntu annyumiza bizibu byakulima mmwanyi n’ateekamu akawuka. Akawuka akatoogera lwaki tokasalira magezi? Buli muntu alina kyakola alina ebimusoomooza,” Mayiga bweyagambye. Agasseko nti abaabadde bamutegedde amatu, nti buli muntu kyanaabera kiva ku kusalawo kwe.
“Bwogenda mukibuga n’obeera engajaba, ne mukibuga oggya kusemberayo. Bwonabeera mukyalo n’osalawo okubeera omunyiikivu, oggya okuzimba amaka amalungi, omukyala akuzaalire abaana, obatuuse mu yunivasite. Tewali bagenda kujja ku kuyamba babalimba. Bajjajjaffe baakimanya ne bagamba nti baseesa gwaka,” Mayiga bweyagambye.
Yeebazizza nnyo Bannabutambala olw’okuwulira omulanga ggwe ogw’okulima emmwanyi nebaguteeka munkola, nagamba nti abakulembeze ekisinga okubamalamu amaanyi bwebutamanya oba obubaka bwebatuusa ku bantu butuuka naddala bwebuba bugenderedde okuyamba bbo. Mukulambula kwe, Katikkiro yatuuseeko mu maka ga Hussein Sserubiri, Ssalongo Edrisa Mwebe, Leonardo Lukyamuzi, Siraje Ntambaazi ne Hajji Amis Kakomo.