Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kakasizza nga bwe katagenda kukkiriza balonzi kusigala ku bifo bironderwamu oluvannyuma lw’okukuba akalulu kaabwe.
Omulamuzi Byabakama agambye nti okuleka abantu mu bifo awalonderwa ne balinda okutuusa ng’akalulu kabaliddwa kikontana n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona kuba kino kisobola okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Kino we kijjidde ng’avuganya ku kkaadi ya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, akunga abawagizi be okulonda mu bungi era basigalewo okukuuma akalulu kaabwe okutuusa nga kamaze okubalibwa.
“Mugende n’endagamuntu zammwe era mukakase nti mulonda, oluvannyuma lw’okulonda temuvaawo okutuusa ng’akalulu kabaliddwa.” Bobi Wine bwe yategeezezza abawagizi be gye buvuddeko.
Kyagulanyi ne ttiimu ye babadde baakatongoza omukutu gw’omutimbagano ogwa U VOTE kwe banaayita okukuuma n’okulondoola ebinaava mu kalulu kano akanaabeerawo nga 14/Jan/2021.
Mu ngeri y’emu ab’oludda oluvuganya mu bibiina ebyenjawulo bataddewo ekifo kimu we bagenda okubalira obululu bwa beesimbyewo bonna abavuganya gavumenti wamu n’abo abeesimbyewo ku lwabwe.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyawamu ekyafulumiziddwa ebibiina ebyenjawulo okuli; FDC, Jeema, NUP, DP, ANT, ne munnamagye Lt. Gen. Henry Tumukunde, bonna bakkiriziganyizza okukolera awamu bakuume akalulu kaabwe.
Bano bagenda kweyambisa tekinologiya owa wamu wamu n’okukolera awamu mu bintu by’ensimbi okusobola okuteekawo obwerufu, mu kukuuma n’okubala akalulu kano aka Vvaawo Mpitewo.