
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda obutagezaako kutabiikiriza byabufuzi mu nteekateeka y’okubala abantu egenda okuyindira mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Okwogera bino Kamalabyonna Mayiga abadde asisinkanye abakungu okuva mu kitongole ky’Ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Mu by’okubala abantu tetwagalamu nnyo byabufuzi, twagala bababale tutegeere abantu abali mu Kampala ne Wakiso tumanye obuweereza bwo buli butya ng’ebintu tubikola na bukugu si kuteebereza,”Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ebibalo bikulu nnyo okusobozesa gavumenti okuteekateeka obulungi nga esinziira ku muwendo gw’abantu gwerina.
Ono asinzidde wano naasaba abantu okugenda okubalibwa kuba kino tekikwatagana nakubasolooza musolo wabula bino biyamba gavumenti okumanya abantu baayo emyaka gyebalimu neesobola okubategekera nga teteebereza.

Owek. Mayiga ategeezezza nti mu nsi ezikyakula abantu beesigama nnyo ku mbeera y’obudde n’ekisa kya Katonda naye n’omuganda agamba nti Lubaale yambikako akasubi nga neweyekweka waali wagumu.
Mukuumaddamula era yeebazizza olw’omukago gwa UBOS ne Buganda nakakasa nti gujja kuyamba nnyo okutuusa obuweereza obugwanidde ku bantu ba Nnyinimu.
Akulira ekitongole ki UBOS, Dr Chris Mukiza agambye nti bagenda ku kung’aanya buli kyebasobola era wadde abantu bakitwala nga kubala bantu naye bazingiramu ebintu eby’enjawulo.
Dr. Mukiza agamba nti essira ligenda kuteekebwa ku bintu bitaano; okumanya omuwendo gw’abantu abali mu ggwanga neeyo gyebawangaalira,engeri gyebawangaalamu n’ebyo byebalina ebibayambako okubeera obulungi.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita Israel Mayengo n’abakungu abalala bangi.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno egenda kutandika omwezi ogujja nga 10, May, 2024, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.