Bya Samuel Stuart Jjingo
Kampala – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busabye bannayuganda okwongera amaanyi mu kukola tekinologiya ataasa obutondebwensi kikendeeze ku bulabe obuva mu kutaagula obutondebwensi obwolekedde eggwanga lino.

Obubaka buno Katikkiro abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule amukiikiridde ku mukolo kkampuni evunaanyizibwa okuleeta kuno amafuta eya National Oil Company kwejagulizza okuweza emyaka 10 ogubadde ku Kingdom Kampala.
Obwakabaka bugamba nti ensangi zino omukka oguva mu bidduka nga kw’otadde enku n’amanda abantu kwe bafuumbira biviiriddeko bannayuganda okulwala endwadde z’amawuggwe ekintu ekizza ebyenfuna by’eggwanga emabega kubanga abantu buli kiseera babeera bajjanjaba ndwadde.
Owek. Mugumbule alaze nti abantu okufumbira ku nku n’amanda kiviiriddeko okutema kw’ebibira okweyongera ekintu ekiviiriddeko ebbula ly’enkuba n’ekibugumu okusaanikira Uganda. Ono asabye abantu okwongera amaanyi mu kukozesa amaanyi g’enjuba n’okukozesa omukka ogufumba (gas) bataase obutondebwensi.

Minisita avunaanyizibwa ku masanyalaze n’ebyobugagga eby’omuttaka Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu naye asinzidde ku mukolo guno n’asaba kkampuni ya UNOC okuwagira enteekateeka za gavumenti ez’okusima amafuta.
Ye Ssenkulu wa Uganda National Oil Company Proscovia Nabbanja agambye nti kati essira balitadde mu kuzimba amaterekero g’amafuta amaggya kibasobozese okuwa bannayyganda amafuta mu budde.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu mu biti eby’enjawulo, wabaddewo n’okusiima abao abakoze omulimu omulungi mu kkampuni eno okulaba nti ekula









