• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Stena Hill School ekoze bulungibwansi: Minisita asabye abantu okukomya obujama

Gambuuze by Gambuuze
March 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Stena Hill School ekoze bulungibwansi: Minisita asabye abantu okukomya obujama
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Makindye – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bwa Buganda bukubirizza abantu okukuuma obuyonjo mu bitundu gye bawangaalira baleme kulinda kulongoosebwa kyokka wabula nabo benyigiremu.

Essomero Stena Hill SS erisangibwa e Lukuli Nanganda mu ggombolola Makindye Mut. III, likoze Bulungibwansi mu bitundu ebiririnanye ng’emu ku nteekateeka y’okujaguza emyaka emyaka 25 nga liri mu nsiike y’ebyenjigiriza.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja y’akulembeddemu enteekateeka eno gy’asinzidde n’akubiriza abantu okwongera okukuuma omutindo gw’ebibuga wamu n’ebitundu gye bawangalira nga biyonjo basobole okwetaasa endwadde eziva ku buligo.

“Tulina okulaba nga tusitula omutindo gw’ekibuga n’ebitundu bino bye tuwangaaliramu nga tutuukira ddala ku mutindo gwennyini ogusaanira ekibuga ekikulu ekya Uganda nga emu ku kampeyini gye tulina mu Bwakabaka bwa Buganda, eby’okulinda abantu babayonje nabyo ssi bituufu, tolinda bantu ku kuyonja tulina okukuuma omutindo gw’ekibuga nga tukiyonja awamu n’okulabika nga kiyonjo twewale okufuna endwadde” Minisita Mariam Mayanja.

Minisita Mariam Mayanja akubirizza abatuuze buli omu, buli dduuka okubeera n’ebifo we bakunganyiza kasassiro wamu n’okugondera amateeka agalungamya ebibuga ebiyonjo. Avumiridde ebikolwa by’okusuulasuula kasassiro n’atuuka ne mu myala egitambuza amazzi ky’agambye nti kye kivaako amataba mu bibuga ensangi zino.

“Temumansamansa kasassiro, temusuula kasasiro mu myala n’amakubo ge muyitamu, ffaayo okulaba nga olina akaveera ku muzigo gwo k’oteekamu ebisaaniko ate era ogondere amateeka kubanga kino kibuga ssi buli muntu nti akole nga bw’ayagala tulina okubeera abateeketeeke nga tweteeseteese bulungi naddala ku nsonga z’obuyonjo n’obulamu bwaffe” Minisita Nkalubo.

Owek. Mariam wano yebazizza ab’essomero Stena Hill School olw’enteekateeka gye bakoze okuyonja ekitundu abayizi baabwe abamu gye bava okugenda ku ssomero ate n’okujjukiza abantu b’omu kitundu amakulu agali mu kweyonja okw’okwesitukiramu awatali kulinda. Ono asabye abantu bongere okuwagira essomero naddala nga batwalayo abaana abatakoma okubangulwa mu kibiina yokka wabula n’ebintu ebitambulizibwako obulamu nga Bulungibwansi n’obuyonjo.

Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika era ng’ono omu ku batandisi b’essomero lino, yebazizza abantu b’ekitundu olw’okwaniriza enteekateeka ya Bulungibwansi ng’agamba nti baakirabye nga kikulu mu kujaguza emyaka 25 kikulu okudda mu bantu naddala nga babakolamu eby’ensoma nga okubalongoosa era wano yebazizza n’abo abeetaba mu lusiisira lw’Ebyobulamu olw’ategekebwa essomero gye buvuddeko.

“Nneebaza abaana abakoze omulimu guno n’okwagala naddala okusomesa abantu b’ekitundu nti mulimu gwabwe bulijjo ojweyonja okusobola okubeera abalamu okutuuka nga tulaba Buganda ne Uganda nga buli yeyagaliramu.

Owek. Bwanika agamba nti ensi nga Rwanda zitadde amaanyi ku nsonga y’obuyonjo era zino zisaana okubeera eky’okulabirako eri abantu ba Uganda nabo okukuuma obuyonjo mu Nsi yaabwe nga beewala okusuulasuula obuveera, obucupa n’ebicaafu ebirala mu makubo oba mu myala. Ono akunze abantu bonna okubeeggattako ku Lwokusaatu nga 25/03/2026 nga baaniriza Katikkiro Charles Peter Mayiga ku ntikko y’ebijaguzo eby’emyaka 25.

Abayizi nga bali wamu n’abasomesa baabwe balongoosezza ebifo okuli mu kirombe, kiwempe, Nanganda n’awalala. Minisita Mariam Mayanja oluvannyuma asimbye n’omuti ku ssomero okwongera okuggumiza obukulu bw’obutonde.Minisita awerekeddwako Muky. Nakazzi Fatumah ssentebe wa bboodi y’ekikula ky’abantu mu Bwakabaka bwa Buganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.