Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Famire y’omugenzi John Baptist Mubiru etonedde Muteesa I Royal University ebitabo ebyenjawulo ebikwata ku byobulimi, nga bino babiyisizza mu minisitule y’enkulaakulana y’abantu era babikwasizza Minisita Choltilda Nakate Kikomeko ku Bulange e Mmengo.
Meere Mubiru Ndagire okuva e Busiro alombozze olugendo lw’omwami we kati omugenzi John Baptist Mubiru eyawandiika ebitabo bino nti yasoma amasomo g’ebyobulimi e Makerere oluvannyuma n’agenda mu America n’ayongera okusoma ekyamufuula omukugu mu byobulimi n’atuuka n’okuwandiika ebitabo bye basazeewo okuwaayo eri Ssetendekero y’Obwakabaka nga baluubirira okugabana amagezi ag’ekikugu agawandikibwa omugenzi Mubiru galeme kuffa ttogge.
Minisita w’enkulaakulana y’abantu asiimye nnyo ebitabo ebiweereddwa Obwakabaka by’agambye nti bya muwendo nnyo era byakuyamba ku bayizi abasoma amasomo g’ebyobulimi agagenda okutandikibwa ku Mutesa I Royal University olwo nabo bafuuke bakugu.
Minisita Nakate era alaze nti entandikwa ku masomo g’ebyobulimi efunise ku nsonga z’ebitabo era ono asiimye nnyo aba famiire olw’okuteereka ebiwandiiko eby’enkizo okutuuka wano kuba ebiwandiiko tebivunda, wano akoowoode abantu ba Ssaabasajja abalina ebiwandiiko eby’omugaso nga bino okubiwaayo eri Obwakabaka.

Omwami w’Esaaza Busiro akulembeddemu abagenyi b’Embuga bano; Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza asiimye nnyo omulimu ogwakoleba omugenzi John Baptist Mubiru okuleka amagezi ag’ensibo okuyita mu kuwandiika ebitabo ekijja okuyamba ennyo abayizi ab’omulembe omutebi.
“Investement omukulu oyo gye yateeka mu kunonyereza ku byobulimi ya maanyi nnyo kuba siya kifo kimu wabula okuva mu mawanga ag’enjawulo n’olwensonga eyo ejja kuyamba nnyo abayizi b’omulembe guno naddala nga Ssaabasajja Kabaka baayagal ennyo okubeera nga benyigira mu bulimi obw’emmwanyi n’ebirime ebirala” Ssebwana bwanyonyodde.









