Bya Noah Kintu
Ssembabule
Ssentebe w’abavubuka mu disitulikiti y’e Ssembabule atuuyana zikala, olw’ebigambibwa nti aliko ssente ze yabulankanya nga zino zaali zaakuweebwa bavubuka ku byalo okusobola okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta akalulu.
Ssente ezireese leenya ziwera obukade asatu mu kamu mu emitwalo nsavu mu etaano mu enkumi biri (3175200) nga zino zaali zaakuweebwa ebyalo ebiwera 504 ebiri mu Ssembabule. Buli kyalo kyali kyakufuna emitwalo 5, ekintu kye bagamba nti tekyakolebwa.
“Twafuna okwemulugunya nga ssentebe w’abavubuka yafuna obukadde bw’ensimbi 3175200/= nga zaali zaakugenda ku byalo 504 mu Ssembabule era buli kyalo kyalina okufuna 50,000 okunoonyeza Museveni obuwagizi mu kalulu akawede, kyoKka twakizuula nga tezaatuukayo mu bavubuka era kye kimu ku kyaviirako n’omuntu waffe okukola obubi mu kitundu kino.” Omu ku bavubuka Rameka Masiko bwe yagambye.
Omwogezi w’abavubuka mu disitulikiti eno, Kamya Kibudiya yategeezezza nti tajja kukkiriza muntu omu kwezibika ssente z’abavubuka era ajja kukola kyonna okusobola okuteekawo obwenkanya. Abavubuka bano balumiriza nti ssentebe waabwe yajingirira ebiwandiiko ebiraga ensaasaanya ya ssente zino era bwe baagezezzaako okuzuula obukakafu bw’ekiwandiiko kino, baakivudde nga zino zaaliibwa bantu ab’olubatu.
Ate ye Ssentebe w’abavubuka mu kitundu kino gwe balumiriza, Bill Clinton, akkirizza nti ssente yazifuna wabula zaamuweebwa kikeerezi ne kivaako obutazigaba mu budde era bwe yasalawo okuziwa bassentebe b’eggombolola okuzigabira abavubuka wabula nabo tebaazituusaayo, ekintu ekimwonoonedde erinnya.
Yayongeddeko nti abataafuna ssente batuufu okwemulugunya wabula ye alina embalirira entuufu ku nsaasaanya ya ssente zino.