Bya Ronald Mukasa
Gulu
Ssentebe wa disitulikiti y’e Gulu Christopher Opio Ateker alabudde abakulembeze mu disitulikiti abakyalemeddwa okuzza ssente z’Emyooga okuzizza mu bwangu oba sikyo bakutimbibwa amannya gabwe ensi ebamanye.
Ateker agamba nti ku SACCO 18 ezaafuna ensimbi zino mu nteekateeka y’Emyooga, SACCO y’ abakulembeze yekyasinze okukola obubi mu kuzza ensimbi zino.
Ono agasseeko nti abakulembeze bano okuviira ddala ku bakansala okutuuka ku bakulembeze ab’ebyalo, batekeddwa okuzza ensimbi zino zisobole okuganyula abantu abalala wabula kyewunyisa okulaba nti ku bakulembeze bonna abaganyulwa mu nsimbi zino tewali n’omu alabiseeko.
Okidi annyonnyodde nti disitulikiti eno yayongeddwa ensimbi obukadde 40 ez’Emyooga nga zino zikola omuwendo gwa bukadde 600 nga zaali zakuyamba abantu 1200 mu disitulikiti eno.
Omukwanaganya w’Emyooga e Gulu Caroline Alaroker agamba nti SACCO yabakulembeze ba disitulikiti yaaeebwa obukadde bw’ensimbi 50, wabula ensonga eremesseza abakulembeze bano okuzza ssente tenategerekeka.
Ye amyuka omukubiriza w’olukiiko mu disitulikiti eno William Obwoyo, era nga ye ssentebe wa SACCO y’abakulembeze bano agamba nti ekizibu kivudde kumakungula amabi mu bammemba ba SACCO eno n’ebyenfuna okuddobonkana.
ono asabye wabeewo okugumiikiriza kuba ensimbi zonna bakuzizza mubudde obutuufu nasaba bakulembeze banne okubeera eky’okulabirako eri abalala.