Bya Ssemakula john
Kampala
Eyaliko Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Paul Kawanga Ssemwogerere, asabye bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya okwegatta basobole okutwala obuyinza mu kalulu ka 2021.
Dr. Ssemwogerere yategeezezza bannabyabufuzi abakung’aanidde ku Hotel Africana okumujagulizaako olwa Ssaabasajja Kabaka okumusiima n’amuwa engule, nti singa abavuganya banaagaana okukolera awamu baakusanga obuzibu obwamaanyi era NRM ejja kusigala mu buyinza.
Ono agambye nti kikwasa ensonyi okulaba ng’ekifo nga eky’Obwaloodimmeeya buli lunaku wavaayo omuntu omupya ku ludda oluvuganya nga naye ayagala kwesimbawo.
“Singa mbadde nkyali mu bukulembeze, ku nsonga ya Loodimmeeya nanditudde n’abalala netulaba ani asinga amaanyi mu bantu era ani anaasobola okwang’anga ebizibu bya woofiisi eyo.” Dr. Ssemwogerere bwe yagambye.
Dr. Kawanga yasinzidde wano neyeebaza Beene okusiima obuweereza bwe ng’akyali mulamu. Ono ejjinja eryamuweebwa yaliwaddeyo eri bannabyabufuzi libayambeko okuleetawo obumu batabagane.
Ku lwa Buganda, Omulangira Wasajja, yannyonnyodde nti Ssemwogerere alina ebintu bingi by’akoledde eggwanga lino era nga byakoze mu kisaawe ky’ebyobufuzi byeyogerere byokka, era nga kyakulabirako eri abantu mu ggwanga.
Ate ye eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) Dr. Kizza Besigye, akukkulumidde banne n’ategeeza nti bali mu kwerwanyisa nga batunuulidde bifo, eky’okwegatta kikoma mu bigambo.
Besigye yagamba nti singa abavuganya Museveni beegatta, ajja kuba afuuse lugero kubanga akozesa kweyawulamu kwabwe okusobola okwenywereza mu buyinza.
Ye Omubaka Robert Kyagulanyi yagambye nti omulamwa gw’okwegatta baguliko nnyo era nga ye akimanyi bannayuganda baabasookayo dda nga kati balinze kimu bakulembeze baabwe kukirangirira.
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago yasabye Katonda awangaaze Dr. Ssemwogerere asobole okubawabula nga bagenda mu nsi ensuubize.
Kinajjukirwa nti buli bbanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, abaako abantu b’asiima n’abawa amayinja ag’omuwendo olw’obuweereza obusukkulumu era ng’abakyasembyeyo mwe muli Dr. Ssemwogerere.
Abalala kuliko; Prof. Josephine Nambooze Ddokita omukyala eyasooka mu Uganda n’obugwanjuba bwa Africa, eyali akulira Sharia mu Uganda, Sheikh Hussein Rajab Kakooza, Munnamawulire John Johns Yakuuze, ne Rev. Can Samuel Kasujja.