Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka akiikiririra Munisipaali ya Kira mu Palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda, alangiridde mu butongole nti waakuvuganya Sipiika Rebecca Kadaga ku bukubiriza bwa Palamenti y’e 11.

Ssemujju kino akirangiridde nkya ya leero ku Olwokubiri wali ku Palamenti bw’abadde ayogerako ne bannamawulire.
“ Ngenda kubeera Sipiika wa Palamenti era Sipiika wa bannayuganda.” Bw’atyo Ssemujju bw’alangiridde.
Omubaka Ssemujju yeegasse ku lukalala lw’ababaka abaavuddeyo edda okuvuganya ku kifo kino nga ku bano kuliko Sipiika Rebecca Kadaga n’omumyuka we, Jacob Oulanyah, wadde bano tebannalangirira mu butongole.
Bw’abuuziddwa ku kyagenda okukola okumegga Sipiika Kadaga, Ssemujju agambye nti yamaze dda okuwandiikira abakulira ebibiina ebivuganya ebirina ababaka mu Palamenti n’abasaba okumuwagira. Ono annyonnyodde nti abadde mu Palamenti okumala akaseera era amanyi ebintu bwe bitambula nga kino kimufunidde obuwagizi okuva mu ba NRM.
Ssemujju yeeyamye nti singa anaalondebwa tagenda kubeera Sipiika wa ludda luvuganya naye ow’ababaka bonna omuli naba NRM. Nganda agamba nti yayingira Palamenti okusooka nga munnamawulire naye n’afuuka omubaka mu 2011 nga kati ali ku kisanja kye ekyokusatu era kino kimuwadde obumanyirivu ku nsonga engeri gye zitambula mu lukiiiko Olukulu.
“Ngenda kukozesa obukodyo buno bwenfunye mu myaka 20 nga ndi ku Palamenti, okusooka nga ow’amawulire ate era ng’Omubaka okufuula Palamenti eyaamaanyi.” Ssemujju bw’agasseeko.