Bya Ssemakula John
Buddu
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi, asuubizza abantu baabadde akiikiirira aba Bukoto Central nti wadde akalulu kamukubye naye tagenda kubavaamu, waakusigala ng’abakolera wadde tekyali mubaka waabwe.
Ssekandi bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire eggulo ku Ssande, mu Mmisa mu Lutikko e Lubaga, yagambye nti yakkiriza ebyava mu kulonda era n’asiima Katonda olw’obulamu bw’amuwadde era n’akakasa okusigala ng’akolera abantu be.
“Katonda ampadde obulamu. Nja kusigala nga nkolera abantu bangi, ebyetaago byabwe bikyaliwo era nja kusigala nga nkola era n’okufuba okulaba ng’abantu bange basigala mu mirembe era baagalane.” Ssekandi bwe yagambye.
Ono yalaze nti wadde yawangulwa naye yenyumiriza mu buweereza bw’atuusizza ku bantu ba Bukoto Central era nga waakusigala ng’abakolera kuba ebyetaago by’abantu tebiggwaayo.
Ssekandi yasabye Katonda amwongere obulamu asobole okutwala enteekateeka z’alina eri abantu be mu maaso.
Kiwanuka Ssekandi abadde mu kifo ky’obubaka bwa Bukoto Central mu Palamenti okuva mu 1994 okutuuka 2021, bwe yawanguddwa munnakibiina kya Democratic Party (DP) Richard Ssebamala.
Okusinziira ku byava mu kalulu, ebyalangirirwa akulira akakiiko k’ebyokulonda, Ssebamala yawangula n’obululu 9,916 ate Ssekandi n’akwata ekyokubiri n’obululu 4904.