Bya Ssemakula John
Busiro
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Owek. Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza akubirizza abazadde okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana babwe n’okunyiikira okukola bayambe okuzza Buganda ku ntikko.
Bino Ssebwana abyogeredde mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka bw’abadde alambula abantu abakola emirimu egy’enjawulo okulaba embeera mwebali.
Ssebwana Kiberu agamba nti abavubuka bangi basiwuuka empisa ensangi zino nebatuuka n’okukola ebitasaana naasaba abazadde okuddayo batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe.
Owek. Kiberu avumiridde abakozesa omutimbagano okubanja Kabaka naabasaba okutta ku bigere kubanga Nnyinimu tebamubanja asiima busiimi Okulabikako.
Ono asoose kusaasira abantu NEMA beyamenyedde ennyumba zaabwe mu lutobazi lw’omu Lubigi bwatyo n’asaba NEMA Okukolagana ne Bassentebe b’ebyalo saako Obwakabaka Okusobola Okubalambika obulungi wakati nga bakola emirimu gyabwe.
Mu bantu baalambudde kubaddeko Abasuubuzi abakolera mu katale ka Wakiso daily Market, Abalimi,Amalwaliro,Lufula n’Ebifo. Ebirala.
Mu kulambula kuno Ssebwana abadde awerekeddwako Olukiiko lwe okubadde Omumyuka Asooka Dr. Grace Sseruyange, kwosa n’Owokubiri Vicent Kayongo era beebazizza banna Wakiso Okwagala Kabaka wabwe.
Bbo abantu abalambuddwa bebazizza Ssebwana Olw’okubalambula nebeeyama okuweereza Nnamulondo akadde konna awatali kugitiiririra.