
Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ejulirwamu mu Kampala esalidde ku musuubuzi Muhammad Ssebuufu ku myaka 40 gye yali yasibwa mu kkomera olw’okusingisibwa omusango gw’okutemula omukyala Betty Donah Katusabe eyali yamugulako emmotoka.
Mu 2019, Ssebuufu awamu n’abalala mukaaga, baasibwa emyaka 40 buli omu wabula ne bajulira mu kkooti ensukkulumu nga bawakanya ekibonerezo kino.
Ku Mmande, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu okuli; Stephen Egonda-Ntende, Catherine Bamugemereire ne Madrama Izama Christopher, baategeezezza nti omulamuzi yakola ensobi okubasiba emyaka 40 ng’ekibonerezo kino kyali kinene, ekitali mu mateeka singa oba otunuulidde omusango guno.
“Tukizudde ng’ekibonerezo ky’emyaka 40 kyali kinene era ne tukkiriza okujulira kwa bano ku kibonerezo. Okusinziira ku byaliwo, ekibonerezo ky’emyaka 19 kyandisaanidde eri buli omu ku bavunaanibwa.” Kkooti bwe yagambye.
Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebbanga bano omusanvu gye bamaze ku alimanda, ekibonerezo kya Ssebuufu kyazze ku myaka 18 nga kyatandika okuva kkooti enkulu lwe yamusingisa omusango nga July, 24, 2019 ate ekya banne bavunaanibwa nabo ne kidda ku myaka 16 buli omu.
Abalamuzi bano era bejjeerezza abamu ku bano omusango ogw’obubbi .
Kkooti yalaze nti Ssebuufu, Godfrey Kayiza, Phillip Mirambe, , Paul Tasingika ne Shaban Odutu, basingisibwa omusango gw’obubbi kyokka nga tewali bujulizi bubaluma ku nsonga eno.
“Tewali bujulizi kulaga nti emmundu oba ekisi eky’omutawaana kyakozesebwa ku Katushabe era tewali bujulizi bulaga kissi kyonna mu musango guno.” Abalamuzi bwe baagasseeko.
Okusinziira ku balamuzi bano, ebyobubbi obwamaanyi ebyogerwako byali bigambo ebyawulirwa awatali bujulizi kuba n’emmotoka egambibwa okubbibwa yazuulibwa ng’erekeddwawo n’esikibwa okutwalibwa ku poliisi e Kyengera.
Kkooti egamba nti eky’okuba nti essimu ya Katushabe temanyiddwa wa gye yalaga tekitegeeza nti eno yali ebbiddwa.
Wabula kkooti yakkiriziganyiza n’omulamuzi wa kkooti enkulu ku nsimbi obukadde 100 ezirina okuweebwa abooluganda lwa Katushabe mu ngeri y’okubaliyirira kuba yalina abantu b’alabirira.
Mu ngeri yeemu, abalamuzi baayimbudde Paul Tasingika, Yoweri Kitayimbwa ne Damasseni Ssentongo, abaali baasingisibwa ogw’okwetaba mu kutemula Katushabe nga bagamba nti abajulizi bonna 26 abajja mu kkooti, bano tebaaboogerako wantu wonna.









